EKITONGOLE ky'amakomera kifulumizza ebiragiro ebikakali eri abasirikale abasibe n'abantu ababeera bagenda okulaba abasibe, ng'omu ku kaweefube w'okutangira n'okulwanyisa ekirwadde kya Ebola.
Abasibe bonna abapya abayingira, naddala ku nsalo ya Uganda ne Congo, mu Kampala n'emiriraano wamu n'abo mu Massekkati, bateekeddwa okusooka okukeberebwa n'okubekaanya nga tebannayingizibwa eri basibe bannaabwe.
Okukyalira abasibe n'okubatwala okukola emirimu gy'akasalo mu byalo, bikendeezeddwa nga bwe batunuulira embeera.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa akulira amakomera mu ggwanga, Dr, Johnson Byabashaija, abakulira amakomera mu bitundu eby'enjawulo, bateekeddwa okugoberera emitendera nga bwe gyassibwawo minisitule y'ebyobulamu mu kulwanyisa ekirwadde kino.
Omwogezi w'ekitongole ky'amakomera Frank Baine Mayanja, asabye abakulira amakomera nti bwe babeerako omulwadde gwe beekengedde, balina okutuukirira bekikwatako ku kitebe ekikulu mu bwangu