Ssaabaddinkoni w’e Kazo eyawummula, Rev.can.Samuel Kasujja atabukidde abantu abakozesa obubi obuyinza ne batuuka n’okutyoboola eddembe lya bannaabwe olw’enjawukana z’eby’obufuuzi.
Bino Can. Kasujja abyogeredde mu kusaba kw’okubatiza abaana ku boxing day olwaleero ku kkanisa ya St.James e Bwaise n’asaba abeebyokwerinda okweddako kuba buli muntu alina omugabo ku Uganda.
Kasujja era ajjukizza abazadde okufaayo ku nnyambala yaabwe esusse okunaabuka nga batambula bukunya ne yeebuuza ekifaananyi kye balaga eri abaana abato.
Ye omubuulizi w’ekkanisa eno James Kyobe yeekokkodde ebikolwa by’okweraguza ebifumbekedde mu bakristaayo nga n’abamu babisimba ku kkanisa nga baagala okusairanya bannaabwe abali mu bifo by’obuweereza.