Poliiis etangaazizza ku nfa y'omwana wa Seeta High

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituma atangaazizza okufa kw'omuyizi Nsamba Kenneth eyafira mu swimming pool ye somero lya Seeta high school

Omwogezi wa Poliisi Rusoke ng'ayogera mu lukung'aana lw'abannamawulire
By Sulaiman Mutebi
Journalists @New Vision

OMWOGEZI wa poliisi mu ggwanga ACP Rusoke Kituma atangaazizza okufa kw'omuyizi Nsamba Kenneth eyafira mu swimming pool ye somero lya Seeta high school.

Bino abyogeredde mu lukung'aana lwa banamawuliire olutula ku kitebe Kya poliisi e Naguru. Rusoke agamba nti batunuulidde akatambi era Poliisi yakutte Kato Dirisa eyali avunanyizibwa ku swimming pool. 
Abasabye okukola ebiwandiiko ebituufu omuli ne biraga  obukugu bw'omuntu akola ku swimming pool.

Ku baana n'omusomesa wa Seeta high school abadde mu bbanga ettono Rusoke agamba nti buli musango bagunonyerezzaako nga bwebaagugguewo.

Agamba tasobola kwongera kintu kyona ekiri mu katambi okutuka nga Poliisi emukiriza.