Abantu munaana abaajingiridde ebiwandiiko okuyingira amagye bakwatiddwa

Abantu 8 abagambibwa okujingirira ebiwandiiko okuyingira amagye n'okugezaako okuwa abansusula enguzi, bakwatiddwa.    

Abantu munaana abaajingiridde ebiwandiiko okuyingira amagye bakwatiddwa
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

Abantu 8 abagambibwa okujingirira ebiwandiiko okuyingira amagye n'okugezaako okuwa abansusula enguzi, bakwatiddwa. 

Bonna abakwatiddwa, bali ku poliisi e Kitgum ng'okubuuliriza kugenda mu maaso okuzuula ekituufu. 

Abakwatiddwa, kuliko David Okurut, Richard Kidega, John Bosco Oryema, Alfred Byaruhanga n'omulala nga bano bagambibwa okuwaayo ebiwandiiko ebijingirire. 

Abalala okuli Samuel Okema, Joel Kitala ne Isaac Karachi kigambibwa nti bagezezzaako okuwaayo enguzi ya shs 90,000/ = okubayingiza amagye. 

Omwogezi wa poliisi mu gwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti bano, okunoonyereza nga kuwedde, bakutwalibwa mu kkooti, bavunaanibwe.