ABABBI abatannamanyika bazinzeeko ekitundu ne basala ebikondo by'amasannyalaz

ABABBI abatannamanyika bazinzeeko ekitundu ne basala ebikondo by'amasannyalaze ne babulawo ne waya eziwerako

ABABBI abatannamanyika bazinzeeko ekitundu ne basala ebikondo by'amasannyalaz
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision

ABABBI abatannamanyika bazinzeeko ekitundu ne basala ebikondo by'amasannyalaze ne babulawo ne waya eziwerako.

Bino, bibadde ku kyalo Bunio mu disitulikiti y'e Bugweri, ababbi bwe basaze emiti Mukaaga ne babulawo ne mita za waya z'amasannyalaze ezisoba mu 400.

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti omuyiggo gw'abantu bano, gugenda mu maaso.

Mu ngeri y'emu era poliisi ekutte omusajja Charles Katamba ku bigambibwa nti abadde yenyigira mu kubba solido z'abatuuze ku kyalo Kireku mu Ggombolola y'e Kikyusa e Luweero.

Kituuma ategeezezza nti baatutte embwa ne bamuzuula ku kyalo Kiwanguzi era mu kumwaza, ne bamuzuula n'ezimu ku solido