EMMUNDU 1,354 n'amasasi 10,147 ,bye bizuuliddwa mu kitundu kye Karamoja mu bikwekweto ebikoleddwa mu myaka Ena egiyise.
Mu bikwekweto bino ebizze bikolebwa okuva mu mwaka gwa 2021 okutuusa kati, Abakaramoja abakambwe 4,727 bakwatiddwa , ensolo 416,889 ne zizuulibwa , ebidomola bya waragi 8,962 n'ensawo z'amanda 9,610 ne zizuulibwa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Kituuma Rusoke, ategeezezza nti bikyagenda mu maaso era nga mu wiiki ewedde , baazudde emmundu endala 3, amasasi 16, abasibe 6 n'ensolo enzibe 108 ne zizuulibwa