Amawulire

Paasika e Kalungu : Mukozese amazuukira gano okweggyako ebikolwa eby'ekizikiza

Bwanamukulu w'ekigo kya St. Jude e Lukaya, mu Kalungu,  Rev.Fr. Henry Kiganda y'akulembeddemu Mmisa eyeetabiddwamu abakkiriza abajjuzza Eklezia ne wabweru. 

Paasika e Kalungu : Mukozese amazuukira gano okweggyako ebikolwa eby'ekizikiza
By: John Bosco Sseruwu, Journalists @New Vision

Okusaba kwa Paasika e Kalungu: Bwanamukulu w'ekigo kya St. Jude e Lukaya, mu Kalungu,  Rev.Fr. Henry Kiganda y'akulembeddemu Mmisa eyeetabiddwamu abakkiriza abajjuzza Eklezia ne wabweru. 

 Fr.Kiganda Ng'abatiza Abaana Mu Mmisa Y'amazuukira.

Fr.Kiganda Ng'abatiza Abaana Mu Mmisa Y'amazuukira.

Mu kuyigiriza, Fr. Kiganda asabye abantu okukozesa amazuukira gano beewale ebikolwa eby'ekizikiza, by'agambye nti kyenkana bimaamidde buli wamu bw’atyo n'abakuutira okwenenya nti bwe babeera baakukyusa obulamu bwabwe.

 

Oluvannyuma Bwanamukulu ono abattiza abaana abasobye mu 80 era n'abasabira essaala batambulire mu kkubo lya Kristu.

 

Tags:
Amawulire
Mazuukira
Bikolwa
Kalungu