Bya Dickson Kulumba
PAAPA Theodorous II agguddewo ebigo by'abamonko n'abanaani n'agamba nti bino byakwongera okutumbula enjigiriza y'Obusodokisi mu bakkiriza.
Ku Lwokuna October 14, 2021 yatukuza Klesia y'ekigo ky'abasajja abeeyawuze (abamonko) ng'eno esangibwa ku kyalo Busaana, mu ggombolola y'e Nyenga mu Disitulikiti ye Buikwe mu Kyaggwe.
Ku mukolo guno yabadde ayambibwako Metropolitan Makarios II, akuuma Obwassabasumba bwa Klesia ya Uganda era nga yatwala ekitundu ky'e Nairobi ne Kenya yonna, Bp. Silvester Kisitu atwala Klesia e Gulu n'obuvanjuba bwa Uganda wamu ne Bp Neofutos atwala ekitundu ky'e Nyeri, Kenya wamu ne Bannaddiini abalala.
Ekigo kino kikulemberwa Fr. Prodoromos Lubega omuli abasajja abeewayo okuwereeza Katonda nga tebagenze mu byansi abawerera ddala.
Ku Lwokusatu akawungeezi yagguddewo ekiggo ky'abakyala eky'Omutukuvu Catherine ku mwalo e Kiyindi mu Disitulikiti y'e Buikwe.
Wano yayawudde Sr. Thavolia Kabarwani ku bukulu bw'okukulira ekigo kino era n'abakuutira okwongera okusabira Klesia n'ebitundu okufuna obukuumi bwa Katonda era n'amwebaza olwenkulaakulana eteereddwa mu kifo kino.
Bp.Silvester Kisitu nga yatwala ekitundu kya Klesia eky'e Gulu n'obuvanjuba bwa Uganda yategeezezza ng'ebigo bino bwebiri eby'omugaso mu Klesia nti ekiseera kyonna, Bannaddiini ababibeeramu babeera bawaayo obudde okusabira abalala.
"Kuno kugenda mu maaso mu nkulaakulana ya Klesia mu Uganda. Monasitule zino y'ebeera entabiro y'okusaba era e Bulaaya osanga ebifo bino nga byefaananyirizaako enkambi, naye zino zaakusaba n'okwegayirira Mukama. Muno mwesibuka n'ekyokulabirako Bannaddiini kye bawa eri abakkiriza n'enteekateeka ezitwala Klesia mu maaso," Bp. Kisitu bwe yayogedde ku bigo bino.