ABAKULEMBEZE b’Eklezia mu ssaza ly’e Lugazi, basabye Abakristu n’abantu ba Katonda bonna okwongera okubakwasizaako mu kaweefube w’okukuhhaanya ensimbi ezinaabayamba okuteekateeka okulamaga e Namugongo okunaaweesa Essaza ekitiibwa.
Baagambye nti ku nsimbi ze baabalirira okukola mu nteekateeka z’emikolo gy’okulamaga e Namugongo, baakafunako ebitundu 50 ku 100 wabula ne bagumya abantu nti basuubira okufuna ensimbi ze beetaaga mu bbanga erisigaddeyo.
Bino byayogeddwa Viika Genero w’essaza ly’e Lugazi, Msgr. Dr. Richard Kayondo mu lukuhhaana lw’abaamawulire ku kitebe ky’Essaza e Lugazi.
Lwetabiddwaamu abakulembeze ku lukiiko lw’Essaza abaakulembeddwa Ssaabakristu Dr. Augustine Kato, abakulira ebyokwerinda okubadde ba RDC Maj. David Matovu abamyuka be n’abakulu okuva mu poliisi mu disitulikiti y’e Buikwe wamu n’abakulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango
Msgr. Kayondo yagambye nti Abasumba bwe baatuula ne basalawo essaza ly’e Lugazi lye liba litegeka okulamaga kw’omwaka guno kwali kusoomoozebwa kw’amaanyi naye ne basalawo okukitwala n’amaanyi basobole okwezza obuggya mu by’omwoyo.
Yagambye nti bassaawo akakiiko akategesi akakulirwa Fr. Godffrey Mboowa ng’ ayambibwako Ssaabakristu w’essaza, Dr. Augustine Kato, omuwandiisi Prossy Konde n’abalala era katambuzza bulungi omulimu.
Yagambye nti omulamwa gw’omwaka guno gugamba nti; “Ayi Mukama Mpa Okulaba Nate Nze Omulamazi wo Ow’essuubi” era nga gwabaweebwa Paapa Francis, kati omugenzi.
Kkwaaya egenda okuyimba ya bantu 500 abato n’abakulu okuva mu bisomesa 34 ebya Lugazi.
Nga May 30, 2025, lutegekeddwa nga lwa baana b’amasomero lwe banaalamaga okubasobozesa okubawa obudde okuyiga ku bajulizi n’okumanya ku kwewaayo kwabwe.
Comments
No Comment