PAAPA Leo XIV eyaakalondebwa ayimbye Mmisa ey’ebyafaayo ebaddemu okumutuuza n’okukwasibwa obuyinza obujjuvu mw'asinzidde n’avumirira abagagga abasusse okunyigiriza ennyo abanaku.
Emikolo gibadde mu kibangiriza ekya St. Peter Square e Vatican.
Eklezia ey’ebyafaayo St. Peter’s Basilica yatimbibwa n’ekibangirizi kyakwo ekya St. Peter’s Square engudo ne zikwatirirako abakkiriza omwabadde abayimba n’abalala nga bakuba ebivuga okumwaniriza n’okumubugiriza ng’agenda okutandika emirimu gy’obwa Paapa mu bujjuvu.
Paapa Leo Nga Bamwambaza Empeta Okutandika Okukola Emirimu Gye Mu Butongole
Paapa Leo XIV nga ye musika wa Peetero owa 267 baamukoledde mmotoka y’obwa Paapa gye yatambuliddemu empya ttuku.
Yalambudde abaabadde bakwatiridde nga bw’ayimirira era yalabiddwa ng’abuuza ku mwana omuto n’abakadde. Amawulire gaalaze nti abagoberezi mu kibangirizi baabadde basoba mu 100,000 nga bonna bakkalidde mu kibangirizi.
Mwabaddemu ba pulezidenti b’amawanga agenjawulo omuli omumyuka wa pulezidenti wa America JD Vance, akola ku nsonga za America n’amawanga amalala Marco Rubio, pulezidenti wa Ukraine Volodymyr Zelensky , abaalabiddwa nga basikangana mu mikono okwebuuza nga mmisa tennaba kutandika.
Abalala abaabadde mu mmisa kuliko pulezidenti wa Peru, Dina Boluarte nga mu ggwanga lino , Paapa yakolerayo nnyo okubunyisaayo eddiini n’okuba Omusumba.
Paapa Bwe Yabadde Akulembeddemu Mmisa Eyasoose Nga Paapa Omujjuvu.
Abagenyi omwabadde abakungu n’abagoberezi okuva mu mawanga agaasobye mu 150 baabaddeyo.
Mu mmisa , Paapa yayigirizza nti mu bukatoliki temuyingiramu bya bufuzi oba okusika omuguwa mu bukulembeze. Yasabye abagoberezi bonna gyebali okwettanira okwegata, okwagalana n’okukolera awamu nga gwe yaddira mu bigere Paapa Francis bwe yakyogeranga.
Yanenyezza enkola z’ebyenfuna ezinyigiriza ezisaanyawo eby’obugagga by’ensi n’ekigendererwa ky’okunyigiriza abatalina.
Yatenderezza obukkakkamu bwa Paapa Francis bwe yalina n’alaga nti yali mukulembeze wa bukatoliki atuukiridde mu byonna.
Yasabye olutalo lw’e Ukraine lukomezebwe n’e Gaza olujjuddemu okuyiwa omusaayi n’okutirimbula abaana, abavubuka n’abakadde ate abagezaako okuwona ne battibwa enjala olw’ebbula ly’emmere eyakwatirwa ku nsalo.
Mmisa ya Ssande yabadde ya njawulo nga yayambaziddwa ekyambalo, engule y’obwa Paapa n’okumusiba omuyondo okwabadde obubonero bw’akaliga ekiraga omukulembeze omulungi ssaako empeta enyweza endagaano n’abagoberezi .
Obuvunaanyizibwa obulaga omusika wa Petero eyasooka okuba Paapa ayimiriddeko Klezia yonna. Essanyu lyabuutikidde abagoberezi nga Paapa akwasibwa n’okwambazibwa.
Vatican yafulumizza ebifaananyi ebikwata ku mpeta ya Paapa gye yayambadde ng'eriko munda ekifaananyi kya Petero eyasooka okuba Paapa n’ekikye ssaako n’engabo.