Paapa Leo akyusizza omubaka we mu Uganda

AAPA Leo XIV, akyusizza abadde omubaka wa Vatican mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco n'amusindika e Slovenia.

Ssaabasumba Bianco
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

PAAPA Leo XIV, akyusizza abadde omubaka wa Vatican mu Uganda Ssaabasumba Luigi Bianco n'amusindika e Slovenia.
Okulangira kuno kwakoleddwa omukutu gwa Vatican ogwa Daily bulletin nga May 20, 2025 kyokka tegwalaze agenda kumuddira mu bigere.
Ssaabasumba Bianco yatuuka mu Uganda mu April wa 2019, oluvannyuma lw’okulondebwa omugenzi Paapa Francis mu February wa 2019. Omumyuka wa Ssaabakristu wa Uganda era omuserikale wa Paapa, Anthony Mateega yategeezezza nti,
buli luvannyuma lwa myaka etaano  Paapa akyusa ababaka be mu nsi yonna oba abamu okuteekayo okusaba kwabwe okw'okuwummula nga Ssaabasumba Bianco y’omu ku bawezezza emyaka etaano mu buweereza buno mu Uganda.