WABADDEWO ddukadduka ku kisaawe kya Growers e Kawempe, akwatidde NUP bendera ku bwapulezidenti bw’eggwanga mu kalulu akajja, Robert Kyagulanyi Ssentamu bw’abadde ayolekera ku lukun’gaana lwe olw'okubiri poliisi n'amagye bwe bikubye amasasi mu bbanga n'omukka ogubalagala mu bawagizi ba Kyagulanyi okubalemesa okumugoberera.

Omuvubuka ng'addusa omuwagizi eyabadde azirise olw'omukka ogubalagala
Ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi, Kyagulanyi asimbudde we yakubye olukungaana lwe olwasoose okwolekera e Kanyanya wabula abawagizi be olwabadde okufuluma ekisaawe okudda mu kkubo poliisi n'amagye byatandikiddewo okubakubamu omukka ogubalagala n'okubayiira amazzi agabalagala obalemesa okweyiwa mu kkubo.
Kyagulanyi yabadde ayisizzaamu omutwe mu mmotoka yagenze okulaba ng’embeera etabuse n'adda mu mmotoka ye era wano nga buli omu n’abuna emiwabo.

Abaserikale n'amagye abaabaddeyo nga bakuuma.
Aba boda boda nabo ppiki bazisudde mu luguudo wakati ne badduka wabula ne batandika okukanyugira abaserikale amayinja era waliwo omujaasi gwe bayasizza omutwe.
Abamu ku bantu embeera yabasusseeko ne bazirika era babayoddeyodde ne baddusibwa mu malwaliro nga n'abasirikale nabo omukka ogubalagala gwabasusseeko ne batandika okudduka n'okweyisa amazzi mu maaso.

Kyagulanyi bwe yabadde atuuka e Kawempe.