Kkooti y’amagye ey’ekibinja ekirwanira mu nsozi (Mountain Division) esingisizza omujaasi waayo omusango gw’okutta era bw’atyo n’emuwa ekibonerezo kyakusibwa obulamu bwe bwonna bw’asigazza ku nsi.
oluvannyuma lw’okusingisibwa omusango gw’okutta banne babiri. Cpl. Avuga, abadde akolera mu kitongole ky’ennyonyi enwaanyi, nga yoomu ku bavunaanyizibwa ku mayengo g’omu bbanga (Signal Department).
Ssentebe wa kkooti eno etudde mu bbaalakisi y’e Muhooti mu kibuga Fort Portal, mu disitulikiti y’e Kabarole, Lieutenant Benon Besigye, y’asindise Corporal Avugo Peter Lomuro, mu kkomera ng’amulanga okutta banne okuli; Private Richard Anyoro, ne Staff Sergeant, Albert Tony Ochen.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti omusango yaguzza mu July, 14th, 2023, era nga kizuuliddwa nga yagezaako n’okutta abantu abalala bataano