Owa Siniya eyavudde awaka ng'agenze kutungisa ngatto ye abuze ne yeewanisa abazadde emitima

Abazadde, bagguddewo omusango gw'okubula ku poliisi e Kakooge oguli ku ffayiro nnamba SD REF:12/21/05/2025 era nga kati bali ku muyiggo

Owa Siniya eyavudde awaka ng'agenze kutungisa ngatto ye abuze ne yeewanisa abazadde emitima
NewVision Reporter
@NewVision
#Kutunga #Mwana #Siniya #Mulenzi #Hakeem Mubiru #Kakooge #Wakiso

Omwana Hakeem Mubiru 17, abuze okuva mu maka ga bakadde be mu Kimbejja Sentema e Wakiso. 

Abazadde, bagguddewo omusango gw'okubula ku poliisi e Kakooge oguli ku ffayiro nnamba SD REF:12/21/05/2025 era nga kati bali ku muyiggo. 

Hakeem bw'afaanana.

Hakeem bw'afaanana.

Nnyina w'omwana Lydia Musoke agambye nti, Hakeem yavudde awaka ku Lwokibiri ng'agenze kutungisa ngatto era teyakomyewo wadde okuddamu okumuwuliza. 

Yabadde ayambadde omujoozi mumyufu nga mulimu ebyakitosi. Abazadde basabye omuzirakisa yenna amulabyeko oba amanyi amayitire ge okubatuukirira ku ssimu 0701-883164 oba okuloopa ku poliisi eri okumpi. 

Login to begin your journey to our premium content