Omutunzi w'engatto eyagezaako okutta omuntu asindikiddwa ku meere e Luzira

KAPERE omutunzi w'engatto eyagezaako okutta omuntu bamusindise mu kkomera

Kapere ng'ali mu kaguli ka kkooti
NewVision Reporter
@NewVision
KAPERE omutunzi w'engatto eyagezaako okutta omuntu bamusindise mu kkomera
 
Simon Mugisha Kapere 45 omutuuze we Kigowa Ntinda mu disitulikiti ye Kampala ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Ronald Kayizzi eyamusomedde omusango gw'okugezaako okutta omuntu ne yegaana. 
 
Kapere nga akola gwa kutunga ngatto yawebwa omulimu gw'okuddabiiriza engatto za Raphael Magezi wabula nga atuuse okuzibanja ono yakozesa akasunguyira n'amusala mu lubuto nga akozesa obumu ku bigambibwa okubeera obwambe bwakozesa mu kutunga . 
 
Kino kyaddirira Magezi okumusaba engatto ze kyokka nga teyazituunze era mu busungu obungu yamuggyako enkoofiira ku mutwe wabula Kapere mu bukambwe yamubuukira n'amusala okukakkana nga agudde wansi era abaddukirize baayanguwa okumuddusa mu ddwaliro. 
 
Poliisi awo weyatuukira nekwata Kapere n'atwalibwa ku poliisi gyabadde akuumibwa okutuusa lweyaleeteddwa mu kkooti naggulwako ogw'okugezako okutta omuntu. 
 
Bino byonna byatuukawo nga April 21,2025 mu bitundu bye Kigowa Ntinda mu disitulikiti ye Kampala wabula omuwaabi wa gavumenti mu musango guno Ivan Kyazze yategezezza kkooti nga okunonyereza bwekukyagenda n'asaba kkooti okubawa obudde okwongera okwetegereza Kapere engeri gyeyazzamu omusango. 
 
Omulamuzi omusango yagwongeddeyo okutuusa nga May 5, 2025 okumanya okunonyereza wekunaaba kutuuse wamu ne Kapere okusaba okweyimirirwa. 

Login to begin your journey to our premium content