PULEZIDENTI Museveni aguddewo ettendekero ly’ebyemikono mu bitundu bya Ankole n’akubiriza abantu b’omu kitundu ekyo naddala abavubuka okulyettanira
babangulwe.
Ettendekero lino liri mu ggombolola y’e Rubaya mu disitulikiti y’e Mbarara nga ligenda kusomesa abantu ab’enjawulo naddala abavubuka obukugu mu kukola emirimu egy’ebyemikono egy’enjawulo.
Pulezidenti Museveni yakakasizza nti okufaananako enkola ya bonna basome eri mu Pulayimale, ne siniya, n’okusoma ebyemikono kuno kwa bwereere ra nga kugendereddwaamu okulaba nga Bannayuganda bafuna obukugu mu kukola emirimu egy’enjawulo gamba ng’okutunga, okubajja, okusiba enviiri n’ebirala ne basobola
okweyimirizaawo. Yakakasizza nti Gavumenti yaakwongera okuzimba amatendekero ag’ekikula kino mu ggwanga n’asaba abatwala eby’emirimu mu masomero gano okuteeka ennyo essira ku kusomesa abavubuka eby’amazzi n’amasannyalaze kuba Bannayuganda beetaaga nnyo obuwereeza buno.
Omukolo guno gwetabiddwaako n’omumyuka wa sipiika wa Palamenti, Thomas
Tayebwa eyasabye Bannayuganda okwemanyiiza enkola ey’okuterekanga ku ssente ze
bakola nga zino tezikoma ku kubayamba mu kwekulaakulanya naye zibataasa ne mu kaseera ak’okusoomoozebwa