Abagenda ku kyeyo ne badda nga ssente zaabwe zabbiddwa bafunye essuubi

ABAVUBUKA abasukka mu 400 ababadde baggwamu essuubi oluvannyumalw’okugenda ku kyeyo okumala emyaka ne bakomawo nga ssente zaabwe abeng’andabaazirya babangudde mu by’emikono.

Akulira Wezesha Impact, Solomon Kayiwa Mugambe ng’akwasa abawala abamaze okutendekebwa okukola ebyemikono satifiketi.
NewVision Reporter
@NewVision

ABAVUBUKA abasukka mu 400 ababadde baggwamu essuubi oluvannyuma
lw’okugenda ku kyeyo okumala emyaka ne bakomawo nga ssente zaabwe abeng’anda
baazirya babangudde mu by’emikono.
“Nkimanyi tekibeera kyangu kya kukkiriza nga weewaayo n’ogenda ku kyeyo okyuse ku mbeera yo ey’ebyenfuna kyokka n’okamawo kuno nga ssente bulijjo z’obadde oweereza abooluganda lwo bakuguliremu ebintu n’okizuula nga zonna baazirya” Solomon Kayiwa
Mugambe, akulira ekitongole kya “Wezesha Impact” ekizzaamu essuubi abagenda ku
kyeyo ne batafunamu bwe yategeezezza.
Bino Kayiwa yabyogeredde ku mukolo kwe yakwasiriza abavubuka bano 400, satifikeeti ezibalaga nti bakuguse mu by’emikono era ebitongole eby’enjawulo bisobola okubawa emirimu nga birina obukakafu nti ababikola bakugu.
Abayizi bano batendekeddwa abakugu ab’ekitongole kya ‘Better Regional Migration Management” (BRMM) nga bawagirwa ab’ekitongole ky’abakozi mu nsi yonna ekya “International Labour Organization” (ILO), Gavumenti ya Bungereza ne bbanka ya Finance Trust Bank.
Abavubuka bano omuli abalenzi n’abawala 400 , ekyeyo abasinga bali bakikolera mu nsi za Bawarabu gye bamaze ebbanga kyokka ne bagenda okukomawo kuno nga tebalina wadde kye balabako ku ntuuyo zaabwe ze balafuubanidde ebbanga eryo lyonna.
Omukolo guno gwabaddewo ku nkomerero ya wiiki ewedde ku Nsambya Sharing Hotel e Nsambye mu ggombolola y’Makindye mu Kampala.
Wanyana Nives yagambye nti mu kutendekebwa kuno afunyemu ebintu bingi eby’obukugu omuli okutunga ebitambaala, ebibbo, okuluka emikeeke ne kalonda omulala “Waliwo mukwano gwange yantwala e Dubai ku ‘VISA’ kyokka nga yakukyalayo si kukola [Visit visa] kyokka bweyaggwako nagezaako okugizza obuggya ne ne nnemesebwa olwo omulimu gw’okuweereza mu wooteeri ne guggwawo ne bantikka ku nnyonyi okukomawo mu Uganda kyokka eky’ennaku bwe nnatuuka waka nga tewali wadde olukuumi” Wanyana bwe yategeezezza. Yayongeddeko nti ng’ali e Dubai , yaweereza maama we obukadde 3, ze yali nsobodde okukolayo mu bbanga eryo
kyokka yagenda okudda mu Uganda nga zonna yazikozesa

Login to begin your journey to our premium content