Abasoma obusomesa e Makerere bazudde obukodyo kw'okusomesa obuggya

ABAYIZI abasoma obusomesa ku Yunivaasite e Makerere bayiiyizza obukodyo obw'enjawulo obw'okwanganga ensomesa empya mu masomero kisobozese abayizi okubitegeera awatali kusoomozebwa.

Abasomesa
NewVision Reporter
@NewVision

ABAYIZI abasoma obusomesa ku Yunivaasite e Makerere bayiiyizza obukodyo obw'enjawulo obw'okwanganga ensomesa empya mu masomero kisobozese abayizi okubitegeera awatali kusoomozebwa.

Bano baayitidde mu ssomero eribangula abasomesa erya College of Education & External Studies, ne bategeka omwoleso mwe baalagidde abakugu mu by'enjigiriza okwabadde abaddukanya Yunivaasite n'abateekateeka eby'ensoma mu ggwanga na biki bye batuseeko okujjawo okusomooza ku bisomesebwa ebiggya.

Abayizi baayolesezza amasomo mu bwoleke (practical) okwabadde Chemistry, geography, physics, eby'okutunga n'ebirala abayizi kwe basobola okulabira okuyiga ensomesa empya.

Lameck Mulangira omusomesa w'okubala ne Physics yategeezezza nti omwoleso guno gwakubayamba ng'abasomesa okusomesa abayizi okubeera abayiiya  nga basobola okwanganga ebizibu.

Yagambye nti ebisomesebwa byonna biteekeddwa okuba nga bitandikira ku bbo ng'abasomesa nga bateekeddwa okubitegeera nga tebannabisomesa.

Mu mwolese guno, waabaddeyo n'okukubaganya ebirowoozo ku ngeri y'okuvvuunukamu obumulumulu obwolekedde ensomesa empya era gwakulembeddwamu Pro. Wilson Ssaabavuma okuva mu kitongole kya NCDC ekiteekerateekera eggwanga eby'ensomesa.

Abayizi baasoose kuloopera bakungu bano ebibasomooza ng'abasoma obusomesa nga bagamba nti ebisomesebwa obudde buno tebiggya mu nsomesa mpya nga bakyali ku nkadde ekibateeka mu kutyabaga k'okutegeera ebinaasomesebwa nga bafulumye Yunivaasite.

Bano era baategeezezza abakulu nti basomesebwa amasomo mangi kyokka ng'agamu tebagassa mu nkola nga batuuse gye basomesa ne basaba bagakendeeze wabula okuteekawo ago gokka agatuukanye n'omulembe guno.

Prof. Robert Wamala eyakiikiridde amyuka akulira Makerere Prof. Barnabas Nawangwe yagambye nti ekimu ku biruubirwa by'emisomo gino n'enjigiriza empya, kwe kubangula abayizi abasobola okuvuganya ku katale k'emirimu mu nsi yonna.

Yategeezezza nti eby'enjigiriza byasukka eddaala ly'okusomesa abaana ebikwate kati essira balitadde ku bwoleke okubangula abayizi okubeera abayiiya n'okwetandikirawo eby'okukola nga bavudde ku ssomero.

Prof. Wilson Ssaabavuma okuva mu NCDC yatenderezza obuyiiya abayizi bwe boolesezza okwanganga ensomesa empya n'ategeeza nti eno ye nsomesa egenda okubbulula eby'enjigiriza bya Uganda kuba amawanga amalala baagitandikako dda.

Yasabye abasomesa okuyamba ku bayizi okutegeera ensomesa eno nga bakola okunoonyereza kiyambe okubabangula mu buyiiya okwetandikirawo emirimu.

Login to begin your journey to our premium content