SSAABAFUMBO w’Essaza ekkulu erya Kampala, Dick Paul Mukasa : Okusobola okwewala okusika omuguwa mu maka, bwemuba nga musaazewo nti, mugenda kufumbiriganwa kyokka nga mwawula eddiini musooke mukkaanye ku ddiini abaana gye banaasoma.
Kyokka ggwe abatutte mu ddiini yo olina okubeera omujjumbize abaana ne basobola okumanya ebigikwatako mu bujjuvu. Kino okikola ng’okitadde mu bwongo nti, munno tamanyi nnyo bikwata ku ddiini yo era ng’ayinza okukaluubirirwa ate okugisomesa abaana.
Ggwe atutte abaana mu ddiini yo okugeza bw’oba Mukatoliki olina okukakasa nga babatizibwa mu budde, obayigirize essaala ez’oku makya n’akawungeezi, batwale basome kalimwezi batandike okusembera ate n’emisomo emirala egiddako omuli konfirimasiyo n’omugigi. N’ow’eddiini endala kola bw’otyo olambike abaana bammwe mu nzikiriza yammwe.
Singa otwala abaana mu ddiini ate n’onafuwa mu kugibayigiriza, baba bajja kusumbuyibwa nnyo era oyinza okulaba nga beebo abakyusakyusa eddiini nga bakuze kubanga tebabeera na musingi munyweevu.