HADIJAH Zawedde, kansala wa Bukoto ‘B’ mu munisipaali y’e Nakawa : Abafumbo bangi abaawula eddiini, okugeza waliwo Abakristaayo bangi nga baafumbirwa Abasiraamu, ate n’Abasiraamu abaafumbirwa Abakrisitaayo. Omwana bwaba Omusiraamu nga maama si musiramu kirungi maama okugezaako okwambala ng’Abasiraamu okugeza okwebikkirira ng’eddiini bw’ebalagira.
Naye mu mbeera ng’abaana bagoberera eddiini gye musazeewo, balina okuyigirizibwa okuwa eddiini endala ekitiibwa naddala eyo eya muzadde we omulala beewale okukola ebiyinza okumwesittaza.
Mu ngeri y’emu, ng’abazadde temugatta ddiini, kyandibadde kirungi omwana ne mumutwala mu ssomero ery’eddiini ye naddala ng’agenda kusomera mu kisulo. Kino kiyamba omwana okubaako bye yeeyongera okuyigirayo omuzadde kw’ayongereza ng’akomyeewo mu luwummula.
Kyokka ekisinga okuba ekirungi ye mwana okutwala eddiini ya taata we kubanga okuva edda ng’omusajja wa nkizo era nga gwe mutwe gw’amaka, nga kiyinza obutalabika bulungi singa omwana atwala eddiini ya maama we.