OMWETTISI w'emigugu mu katale k’e Nakasero asindikiddwa mu kkomera e Luzira lwa kukukusa mwana wa myaka ebiri.
Ibrahim Nyangali omutuuze w’e Katwe mu munisipaali y’e Makindye mu disitulikiti y’e Kampala ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Winnie Nankya Jatiko n'aggulwako omusango gw’okukusa omwana n'ekigenderwa ekitannategeerekeka.
Kigambibwa nga August 31,2025 mu katale k’e Nakasero ku ssaawa nga 5:00 ez'ekiro omwana yabula ku jjajja we Zarida Nakasumba oluvannyuma kwe kuggulawo omusango ku poliisi ya CPS ne batandika omuyiggo.
Oluvannyuma omwana yasangibwa ne Nyangali e Bugoloobi era yakwatibwa n'aggulwako omusango gw’okukusa omwana n'ategeeza nga ye bwe yali anywedde enjaga eyamuviirako okutwala omwana mu kifo ky’atamanyi.
Nyangali teyakkiriziddwa kubaako ky’ayogera mu kkooti kuba omulamuzi avunaanyizibwa ku misango egyekikula bwe kityo yabadde taliiwo n’asindikibwa ku mmeere e Luzira okutuusa nga September 17,2025 okusomerwa omusango.