Abazigu balumbye edduuka lya Mobile Money ne banyaga obukadde 160 e Kitintale

ABAZIGU b’emundu balumbye edduuka lya mobile money e Kitintale okuliraana ekizimbe kya Access Bulding emisana ttuku ne babba sente ezisoba mu bukadde 160 n’oluvannyuma ne bawandagaza amasasi mu bbanga ne badduka.

Ab'ebyokwerinda nga bazinzeeko edduuka lya Mobile Money ababbi webanyaze
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAZIGU b’emundu balumbye edduuka lya mobile money e Kitintale okuliraana ekizimbe kya Access Bulding emisana ttuku ne babba sente ezisoba mu bukadde 160 n’oluvannyuma ne bawandagaza amasasi mu bbanga ne badduka.

Kyokka bano abatuuze n’abakozi mu dduuka lino babawereekerezza enduulu okukakkana nga omu ategerekese nga ye Farouk Matovu akwatiddwa ate omulala atategerekese mannya n’akubibwa amasasi agamutiddewo bw’ataayiziddwa omusirikale wa UPDF abadde akuuma gy’addukidde.

Obulumbaganyi buno bubaddewo ku lw’okuna ku ssaawa nga ssatu ez’okumakya abasajja babiri ababadde n’emmundu bwebazinzeeko edduuka lya mobile money erya Isma Kazibwe mwebasanze Ibrahim Ssebanenya ne Rashid Kyeyune nebabakanda sente.

Farouk Mangeno omuvuzi wa mmotoza za buyonjo mu kifo obubbi buno webubadde ategeezezza nga ababbi bano bwebazze nga babalaba kyokka nga tebasoose kutegeererawo nti babbi.

Edduuka abazibu webaalumbye

Edduuka abazibu webaalumbye

Ategezezza nti ababbi bano babade basatu nga omu yeyasoose okutuuka mu kifo kino kyokka nebamwekengera nga balaba yebuzabuza nabo kwekumukuumirako amaaso.

Wayiseewo akaseera katono nebalaba nga waliwo boda boda ejja kyokka nebatagifaako nga balowooza eriko musaabaze era omusajja agibaddeko emabega n’agivaako nga akutte ekikutiya n’ayingira eduuka lya mobile money kyebataategereddewo nti kibaddemu mundu, n’oluvannyuma munne n’amugoberera.

Bagenze okuddamu okuwulira nga essasi livuga mu banga era bagenze okutunulayo nga abasajja babiri bafubutuka mu dduuka nga omu alina emundu nga omulala akutte ekikutiya kya sente nebadduka.

Ababadde mu dduuka bavuddeyo nebatandika okukuba enduulu n’oluvannyuma nebegattibwako abatuuze n’abasuubuzi abakolera awo nebatandika okugoba ababbi bano.

Babataayizza nebasooka bafunza Farouk Motovu nebamukwata nebamuggyako ekimu ku bisawo bya sente nebakiddiza nannyini waazo kyokka nga tebategedde oba ezo zokka zebabadde babbye oba nga wabaddewo n’endala.

Oluvannyuma Matovu bamukomezawo mu kifo w’abadde abbye n’abamu ku batuuze nebatandika okumuyisaamu empi n’ensambaggere n’oluvannyuma nebamuggalira mu dduuka poliisi okuva e Kitintale w’etuukidde n’emukwata.

Abatuuze abalala basigadde bagobagana n’omubbi abadde adduse n’emundu nga bwebamuwereekereza enduulu okutuuka e Bugoloobi okulinaana essomero lya St. Kizito nga eno gy’asanze omuserikale wa UPDF abadde aliko amaka g’akuuma amukubye amasasi agamutiddewo. Kyokka ono agenze okwaziibwa okuzuula ebimukwatako n’asangibwa ne densite nga eri mu mannya ga mukyala.

Rashid Kyeyune omu ku babadde mu dduuka lino ategezezza nga abasajja bwebazze nga bakasitoma kyokka omu abadde n’emundu mu kaveera n’agiggyayo n’abagamba baleete sente n’abalagira bagwe wansi nabo kyebakoze.

Ab'ebyokwerinda nga bazinzeeko edduuka ababbi webanyaze Mobile Money

Ab'ebyokwerinda nga bazinzeeko edduuka ababbi webanyaze Mobile Money

Oluvannyuma babalagidde okweggalira mu kasenge nga eno bafunye omukisa nga waliyo omulyango gwebayiseemu nebagguka wabweru olwo nebatandika okukuba enduulu esombodde abatuuze nebabataayiza.

Ategezezza nga aensimbi zino bwezibadde zitanamanyika muwendo kubanga eggulo limu ku lw’okusatu baali basuze tebazizaayo sente mu banka nga zonna bazirina era nga zibadde zisoba mu bukadde 160.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango ategezezza nga attiddwa bw’asangiddwa n’emundu ne magaziini z’amasasi bbiri.

Akakasizza nga omukwate, Farouk Matovu bw’akuumibwa ku poliisi ya Jinja road nga bwebagenda mu maaso n’okunoonyereza naddala okuzuula omuwendo gwa sente omutuufu ogubadde gubiddwa.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Asuman Ssemakula bavumiridde nnyo obubbi obulimu n’ettemu bususse ensangi zino nebasaba poliisi n’ebitongole by’ebyokwerinda okwongera ku bukuumi mu kitundu naddala nga bakola okulawuna.

Ssentebe w’ekitundu kino Godfrey Ndawula avumiridde nnyo abavubuka abatayagala kukola kyokka n’asaba n’abo bonna abalina bizinensi ezirimu sente ennyingi okusookanga okulowooza ku bukuumi bwabwe okwewala okufiirwa obulamu.

Atwala eby’okwerinda mu muluka gwe Mutungo, Isa Tabalo asiimye nnyo abatuuze abatatwalidde mateeka mu ngalo nebaleka omubbi nga tatiddwa nga balowooza nti ono ajja kubayambako okuzuula abalala bebakola nabo.