Bya Martin Kizza
Abatuuze b’e Wabiyinja Zone e Mutundwe Kirinya Bigo mu ggombolola y’e Lubaga bafunye ekyekango bwe basanze omwana ow’emyaka ebiri ng’ asuulidwa ebbali w’ekkubo.
Abatuuze bayise difensi, Levi Kibuuka atuuse n’avumirira ekikolwa kino n’ategeeza abazadde abalina ebizibu bategeezengako aboobuyinza.
Enkuba etonye ku makya omwana ono emugwereddeko ng’ ali mu bugoye maama we bweyamutaddeko.
Abatuuze bavumiridde ekikolwa kino ne basaba abakazi okulabirira abaana baabwe baleme kubasuula ne bavumirira abasajja abatayagala kuwa bakazzi buyambi nga be bavuddeko ebizibu ebifaanana bwebiti.
Difensi w’ekyalo omwana amututte ku poliisi mu kitongole ekikola ku nsonga z’amaka nga nabo batubidde naye nga bwe banoonya we bamussa.
Difensi agguddewo omusango ku poliisi y’e Nateete ku fayiro SD REF 34/19/04/2022, era maama w’omwana wanaangibwa waakukwatibwa avunaanibwe.