OMULIRO gukutte e Mulago mu Zone II ne gufiiramu omwana ow’emyaka etaano. Eyafudde ye Britney Kainza (mu katono) ng’abadde asoma Middle Class ku ROSA Kindergarten erisangibwa e Mulago mu Kawempe.
Abadduukirize baakoze ekisoboka okutaasa omwana eyabadde mu kinaabiro ky’omu nju ng’anaaba mu kiseera omuliro we gwakwatidde wabula ne balemwa.
Omu ku badduukiridde, Eddie Kiggundu yagambye nti baasoose kulaba masannyalaze nga gabwatukira ku muti oluvannyuma baalabye omukka nga guva mu muzigo ogumu n’ekyazzeeko kwaka. Bino byabaddewo ku ssaawa 1:30 ez’akawungeezi.
Maama w’omugenzi, Zaina Mutuwa yagambye nti mu kiseera omuliro we gwakwatidde yabaddewo awaka ng’atudde wabweru n’alagira abaana be bagende banaabire mu kinaabiro ky’omu nnyumba, omuliro gye gwabasanze. Omugenzi yaziikiddwa ku kyalo Rwalera mu ggombolola ye Bungokho mu muluka gw’e Bubilabi mu disitulikiti y’e Mbale