Amawulire

Museveni asonze ku bikyalemesezza amawanga ga Africa

PULEZIDENTI Museveni asabye amawanga agakyakula okufaayo ku bungi bw’ebintu bye bafulumya ne bye bakozesa, lwe bajja okusobola okwebbulula okuva mu bwavu.

Pulezidenti Yoweri Museveni (ku ddyo) ng’ayogerako n’abakungu abeetabye mu lukuhhaana lwa NAM ku Speke Resort Munyonyo mu kuluggulawo eggulo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

PULEZIDENTI Museveni asabye amawanga agakyakula okufaayo ku bungi bw’ebintu bye bafulumya ne bye bakozesa, lwe bajja okusobola okwebbulula okuva mu bwavu.
Yabyogeredde mu lukiiko lwa baminisita b’ensonga z’ebweru okuva mu mawanga ga nampawengwa aga Non-Aligned Movement (NAM) ku Speke Resort Munyonyo.
Pulezidenti yagambye nti, ekimu ku kizibu kya Africa kwe kubeera nga ebintu bye bakola bakyalemeddwa okubyongerako omutindo n’okuzimba amakolero basobole okubifunamu.
Olukiiko olwatandise eggulo lwavumiridde obulumbaganyi obuzze bukolebwa Israel mu luwannanda lw’e Gaza, Iran, Syria ne Lebanon. Abakiise baasabye Palestine etongozebwe ng’eggwanga.
Olukiiko luno lwagendereddwamu okulondoola ebyasalibwawo mu lukiiko lwa NAMolwatuula mu Kampala mu January wa 2024 we bituuse awamu n’okusalira amagezi obutabanguko obuli mu kitundu kya Middle East.
Olukiiko lwasabye akakiiko k’ekibiina ky’Amawanga Amagatte aka United Nations Security Council okwanguyiriza okukola ku kusaba lwa Palestine etongozebwe ng’eggwanga awatali kulindiriza kwonna.
Ekiwandiiko ekitongole ekyafulumiziddwa kyavumiridde ebikolwa bya Israel ebyokutirimbula abantu ba bulijjo nga kwe batadde n’okusaanyawo amasomero n’amalwaliro, amasinzizo n’okusengula abantu ku kifuba okuva ku ttaka lyabwe.
Baasabye eggwanga lya Palestine libeerewo ng’ekibuga kyabwe ekikulu kya East Jerusalem nga bwe kyali ku nsalo ezaaliwo nga 1967 tegunnatuuka.
Olukiiko era lwavumiridde ekyakolebwa Israel okulumba Iran ekyavaako abantu okufa n’okulumya abawera. Olukiiko lwasembye okussa mu nkola ekyasalibwawo olukiiko lw’Amawanga Amagatte nga June 12, 2025 olwalagira Israel okuggula ensalo zonna ezituuka e Gaza.
Beebazizza kaweefube akoleddwa eggwanga lya America nga bali wamu ne Egypt, Qatar ne Turkey agendereddwaamu okukomya olutalo lwa Israel ne Palestine.
Okumanya abakiise baabadde bakaawu nnyo ku Israel era baagivumiridde olw’obulumbaganyi bwe yakola ku kitundu kya Golan Heights ekitwalibwa Syria n’ekitundu kya Lebanon.

Tags: