Amawulire

Kayima asuddewo obwami bw’Essaza n’afuuka RDC wa Mpigi

OMWAMI wa Kabaka ow’Essaza lya Mawokota, Kayima Sarah Nannono Kaweesi asudde obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa Ssaabasajja n'akkiriza ekifo ky'obwa RDC ekyamuweereddwa Gavumenti eya wakati.

Kayima Sarah Nannono bwe yabadde mu ofiisi ya RDC e Mpigi ne Assistant RDC Saadi Mwanje ne GISO Ssentongo.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

OMWAMI wa Kabaka ow’Essaza lya Mawokota, Kayima Sarah Nannono Kaweesi asudde obuvunaanyizibwa obwamukwasibwa Ssaabasajja n'akkiriza ekifo ky'obwa RDC ekyamuweereddwa Gavumenti eya wakati.
Kayima Nannono kati ye RDC wa Mpigi alindiridde okukwasibwa ofiisi ng'adda mu bigere bya Hajji Moses Ddumba eyakyusiddwa gye buvuddeko n'atwalibwa e Butambala awaabadde Hajji Ahmed Kateregga Musaazi eyatwaliddwa e Jinja.
Eggulo Nannono yeeyanjudde ku kitebe kya disitulikiti e Mpigi mu ofiisi ya RDC n'ategeeza be yasanzeewo nti, asuubira okutandika emirimu mu butongole wiiki ejja ng'amalirizza n'okutegeeza ababadde bakama be e Mmengo ku by'omulimu gwe omupya.
Ensonda e Mmengo zaategeezezza nti, okulondebwa kwa Kayima baabadde tebannakubamanyisa mu butongole era ne Nannono tannababuulira mu butongole era bo bakyamulaba ng'omwami wa Kabaka.
Nannono yaweebwa obwa Kayima mu April wa 2024 n’atuuzibwa mu November w’omwaka oguwedde ku Ssaza e Butoolo

Tags: