ABAZIGU ababadde batambulira ku bodaboda bateeze dayirekita w’essomero e Mukono ne bamuma ebijambiya.
Geoffrey Mayanja 54, nga ye dayirekita wa Jesjonny P/S erisangibwa e Ngandu mu munisipaali y’e Mukono ye yatemeddwa abazigu abaabadde batambulira ku bodaboda bwe yabadde akedde okugenda ku ssomero.
Bino byaddewo ku Lwokusatu ku ssaawa 11:00 nga bukya. Kigambibwa nti abayizi b’ekisulo abaabadde bakedde okusoma ebitabo be baalengedde abazigu nga batema omuntu ebiso kwe kukuba enduulu eyagugumudde omukuumi w’essomero.
Muliraanwa w’essomero lino, Richard Luswata, yategeezezza Bukedde nti omukuumi yayagadde okudduukirira enduulu, wabula abazigu ne bawagala amajambiya mu luguudo nga bwe bamutiisa nti bw’aba akooye obulau agezeeko okubalumbagana.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kampala n’emiriraano Patrick Onyango, yakakasizza ettemu lino n’agattako nti abazirakisa be baayoddeyodde Mayanja ne bamutwala mu ddwaaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital gy’akyafunira obujjanjabi.
Yagasseeko nti batandise okunoonyereza ku bazigu bano era baliko oluwenda lwe baakutte nga mukakafu nti bajja kubazuula.
Akulira eddwaaliro lino, Dr. Joyce Nannozi yategeezezza nti Mayanja we yatuusiriddwa mu ddwaaliro ng’avuddemu omusaayi mungi. Yagambye nti baamutemye nnyo ku mutwe, ku mikono n’amagulu kyokka nti embeera ye baabadde bagikutteko nga tekyatiisa.
Mukyala wa Mayanja, Peninah Nakabuye, yagambye nti bba abazigu baamutemye ejjambiya munaana nga mukaaga baazimutemye ku mutwe era zaamukosezza nnyo. Yagambye nti baamubbyeeko essimu ye ekika kya Samsung Note 10.
ETTEMU ERIZZE LIBEERA MU MUKONO
Mu kiro ekyakeesa nga June 9, 2025, ku kyalo Nsuube A mu Mukono Central Division, abazigu abaali mu byambalo by’amagye baateega eyali omukungu w’ebyensimbi mu kitongole kya Compassion International, era dayirekita w’essomero lya Beloved Day Care Nursery School -Nsuube ne bamutta ne banyaga n’ebintu bye okwali essimu ne kompyuta ekika kya laptop.
Abeebyokwerinda baakwata abagambibwa okwenyigira mu ttemu lino nga kuliko; Ashraf Tumusiime (40) amanyiddwa nga Obadia, Fahad Kasolo (30), Mike Ssenteza (40) amanyiddwa nga Mwagamwaga, Sgt. Muhammad Mwesigye (50) yeeyita Jet Lee ng’ono yadduka mu ggye lya UPDF, Cpl. Mugabe Borban ng’ono wa Military Police e Kololo, Keeya Derrick, Dauda Kyangwe n’abalala abatannakwatibwa. Bano bali mu kkooti gye bawerennembera n’egy’obutemu n’okubbisa eryanyi.
Nga April 4, 2025, ku St. Francis Schools of Health Sciences, Cornelius Kitimbo baamufumita ebiso ku mutwe ne badduka ne pikipiki Bajaj Boxer nnamba UGF 037H. Kitimbo yaddusibwa mu ddwaaliro lya Mukono General Hospital n’ajjanjabibwa.
Mu August wa 2024, akulira ebyobulamu mu munisipaali y’e Mukono, Dr. Anthony Kkonde abazigu baamuteega ne bamutemaatema.