Amawulire

Ababbira ku boda baboogezza

BAMBEGA ba poliisi boogezza abasajja ababbira ku bodaboda nga bakozesa emmundu abaakwatiddwa ne bababuulira ebikolobero bye bazze bakola, ebitundu bye bazze babba ne gye babadde bateekateeka okubba wiiki eno, n’ejja.

Pisito egambibwa okukozesebwa mu bubbi.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

BAMBEGA ba poliisi boogezza abasajja ababbira ku bodaboda nga bakozesa emmundu abaakwatiddwa ne bababuulira ebikolobero bye bazze bakola, ebitundu bye bazze babba ne gye babadde bateekateeka okubba wiiki eno, n’ejja.
Baagambye nti ssinga babaleka ne bagenda babba ebitundu gye babadde bategese, bajja kuva mu poliisi nga tebeevuma nsi. Emu ku miisoni ze baabadde nazo mulimu ebalirirwamu doola 600,000 (mu za Uganda 2,190,000,000/-) ate endala ebadde yaakukolebwa Masaka kyokka tebaalaze muwendo gwa ssente.
Baabuulidde bambega nti be baalondodde omusuubuzi w’omu Kisenyi eyategeerekeseeko erya Tamale ng’ali mu mmotoka Pick Up Double Carbin ne bagisalirako mu Kikajjo e Nsangi nga baagala okumubba kyokka n’agibuukamu olwo abatuuze ne bakung’aana ne babalemesa miisoni.
Baagasseeko nti be baakola obulumbaganyi ku maka g’omukazi (amannya gasirikiddwa) e Ndejje mu zooni ya Mirimu ne bamusobyako ne babba ne ssente nga June 13, 2025 kyokka poliisi n’ebasalako n’ebasuuza mmotoka kika kya Toyota Noah UBQ 729T enzirugavu, emmundu bbiri n’ebijambiya ne munnaabwe gwe baali baakazaako erya Kakiga ne bamutta.
Baabuulidde abaserikale bwe batta omukuumi wa kkampuni y’obwannannyini eyali akuuma SACCO emu e Gganda mu Municipaali y’e Nansana mu April ne bamubbako emmundu, eno y’emu ku mmundu ebbiri poliisi ze yabasuuza nga June 13, 2025.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti miisoni ze baakakola nnyingi kyokka baabadde bakyabongera amawulire ku miisoni zino.
Okusinziira ku bambega ba poliisi, ekibinja kino kiduumirwa Patrick Kirumira ng’ono ye kafulu w’okumenya n’okuggula kkufulu za sseefu we baba bagenze okubba.
Abalala poliisi be yakutte kuliko; Joseph Kirumira eyasangiddwa ne pisito eteeberezebwa okuba nga ya poliisi. Kirumira mutuuze mu Bataka Zooni e Nabbingo mu Town Council y’e Kyengera. Abalala ye Richard Kisekka omutuuze w’e Kinaawa ku luguudo lw’e Nakawuka, Bukama Bumaali eyeeyita Waasi Waasi omutuuze w’e NdejjeEmmanuel Mande, Muyanja Conrad Fred n’omuwala.
Mu kibinja kino buli omu abadde alina omulimu gw’akola. Bumaali y’abadde avuga bodaboda kwe batambulira, Muyanja y’abadde aziga enfo we bagenda okubba ssaako okuggya amawulire ku poliisi n’agazzaayo mu babbi era ono abadde tava ku poliisi y’e Katwe nga n’okukwatibwa, yabadde agenze kusaba poliisi akolagane nayo mu kuyigga ababbi. Kisekka y’abadde makanika w’emmotoka ne bodaboda ze bakozesa mu miisoni zaabwe, Joseph Kirumira n’omuwala be baabadde batereka emmundu ate mukama waabwe Patrick Kirumira, y’abadde avunaanyizibwa kukuggula, okumenya n’okukikiitanya kkufulu we bagenze okubba.
Ensonda zaagambye nti baakakwata emmundu ssatu, ng’emu baakizudde nga yabbibwa ku muserikale eyattibwa e Gganda, endala kika kya AK47 bakyagyekenneenya ate pisito, baasanze yasangulwako laama zonna nti kyokka, yaweerezeddwa ew’abakugu mu kwekenneenya ebizibiti okuzuulaebigikwatako.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yagambye nti ekikwekweto kino kikyagenda mu maaso kuba akabinja kano kanene era bwe banaaba bamalirizza, bajja kuwa lipooti enzijuvu.
Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti bambega ba poliisi y’e Katwe baasoose kukwata abasajja babiri ku Lwomukaaga lwa wiiki ewedde abagambibwa okuba nga baabadde beenyigira mu bubbi n’ebikolobero eby’enjawulo okwetooloola Kampala ne Wakiso ne balonkoma bannaabwe ne gye babadde batereka emmundu.
BAMAZE EBBANGA NGA
BAYIGGA ABAKULIRA
Patrick Kirumira oluusi eyeeyita Mulongo Kato, ensonda zaategeezezza nti bamaze ebbanga nga bamuyigga ku misango gy’okubbisa emmundu, okuteega abatambuza ssente, okubba aba Mobile Money ng’akozesa bodaboda n’emisango emirala.
Eyali omuduumizi wa poliisi y’e Katwe nga kati yakyusibwa David Kamugira yagambye nti baali bamuyigga ku misango gy’okubbisa emmundu ate n’agenda nebanne e Ndejje ne babba kyokka n’abatebuka nga bagenze okumukwata n’abuuka ekikomera n’adduka munne abatuuze ne bamutta.
Ono ye yali avuga Toyota Noah enzirugavu gye baali batambuliramu poliisi oluvannyuma gye yazuula ng’ekwekeddwaamu emmundu bbiri.
Ensonda zaategeezezza nti bwe baayazizza amaka ga Kirumira baasanzeeyo ejjambiya empagale obulungi bbiri, ebyuma ebikozesebwa okumenya n’okuggula kkufulu, ffiriigi (deep freezer) bbiri, emifaliso ebiri, engoye eziteeberezebwa okuba enzibe nga zipakiddwa mu nsawo, ttivvi lubaati n’ebintu ebirala

Tags: