Omuyizi agambibwa okwetta yasoose kwewanira ku banne nga bwe bali abagagga ewaabwe

Enfa y’omuyizi wa S3 mu Seeta High e Mukono ereese akasattiro ku ssomero ne mu ffamire. Elishamah Ssesanga 17, abadde omuyizi mu S3 mu Seeta High yasangiddwa afiiridde mu buliri ku ssomero nga kigambibwa nti yakozesezza ssuukaokwetuga.

Omuyizi agambibwa okwetta yasoose kwewanira ku banne nga bwe bali abagagga ewaabwe
By Meddie Musisi
Journalists @New Vision
#Amawulire #Muyizi #Seeta high #Mwana #Mulenzi

Enfa y’omuyizi wa S3 mu Seeta High e Mukono ereese akasattiro ku ssomero ne mu ffamire. Elishamah Ssesanga 17, abadde omuyizi mu S3 mu Seeta High yasangiddwa afiiridde mu buliri ku ssomero nga kigambibwa nti yakozesezza ssuuka
okwetuga.

Ensonda ku ssomero lino zaategeezezza nti Ssesanga yasoose kwewaanira ku banne ng’ewaabwe bwe bali abagagga era ssente zonna z’abaayagala kitaawe azimuwa awatali kubuuza ky’agenda kuzikozesa bw'atyo n’abategeeza nga bwe yabadde agenda okumukubira essimu amusabeyo obukadde bubiri.

Kigambibwa nti omuyizi ono bwe yakubidde kitaawe Robert Ssesaazi nnannyini ssomero lya Trinity Love essimu n’amusaba ssente ezo bw’ataazimuwadde kwe kumusanga mu buliri bwe mu kisulo mw’abadde asula nga mufu.

Ensonda zaategeezezza nti omulambo gwa Sesanga gwalabiddwa mukwano gwe ku Lwokutaano kumakya oluvannyuma lw’okulaba nga yabadde tazuukuka okugenda mu kusoma okw’oku makya.

Poliisi okuva e Mukono yayanguye okutuuka ku ssomero lino n’esalako ekisulo awaabadde enjega eno n’oluvannyuma n’eggyawo omulambo ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago bazadde be gye baagusanze ne bagutwala
okuguziika e Kyotera.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Oweyesigyire yategeezezza nti poliisi ekyanoonyereza ekyavuddeko omwana ono okwetta.