Aba I&M Bank beeyamye okukwatizaako bizinensi za 'bamufunampola'

ABATANDIISI ba bizinensi entonotono n’abalimi mu ggwanga bakubiriziddwa okwettanira enkola ez’omulembe omuli tekinologiya atukagana ne bizinensi ze bakola wamu n’ebidduka ebikozesebwa ebipya eby’omulembe kibasobozese okukula amangu.

Aba I&M Bank beeyamye okukwatizaako bizinensi za 'bamufunampola'
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABATANDIISI ba bizinensi entonotono n’abalimi mu ggwanga bakubiriziddwa okwettanira enkola ez’omulembe omuli tekinologiya atukagana ne bizinensi ze bakola wamu n’ebidduka ebikozesebwa ebipya eby’omulembe kibasobozese okukula amangu.

Edward Gibson Nangano akulira ebya bizinensi mu I&M Bbanka bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire yategeezezza nti okunoonyereza kulaga nti Bannayuganda bangi bakozesa nnyo ebintu ebikadde okusinga ebipya kino ne kireetera bizinensi okusereba mu nkulaakulana.

Yategeezezza nti wabula ate emmotoka empya bwe zigulibwa mu kibanja mpola kisobozesa bulungi abalina bizinensi okuzifuna ku bbeeyi gye basobola mu mpola ne bakuza emirimu gyabwe awatali kunyigirizibwa.

Okwogera bino yabadde mu kutongoza pulogulamu ya 'Tukikube', I&M mwe yeeyamidde okuyambako bizinensi ezikula mu ggwanga n’abalimi nga babasomesa n’okubawa amagezi ku ngeri y’okukuzaamu bizinensi zaabwe wamu n’okubayambako ku ngeri gye basobola okumalawo ebibasoomoza mu mirimu gye bakola.

Robin Bairstow akulira I&M Bank agamba bbanka eno etandisewo enkola ey'okuyambako abantu abalina bizinensi entono okusitula ebyenfuna byabwe nga muno bataddewo enkola bannannyini bizinensi mwe basobola okubebuuzaako we basanga okusomoozebwa, n’okukendeeza amagoba g’okwewolerako ssente okutuuka ku bitundu 18 mu myezi 12.

Mu kaweefube ono wateereddwawo n’emmotoka ekika kya ‘Pick up’ esobola okugulwa bannabizinensi mu kibanjampola nga buli mwezi agyagala asasula obukadde 3 n’emitwalo 20 okumala emyaka etaano.