KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde efujjo n’okugabangula ssente ebyetobese mu kulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM gyebuvuddeko.
Mayiga agamba nti emizze gino si kabonero kalungi ku nkulakulana ya demokulasiya mu Uganda bwatyo n’asaba akakiiko k’ebyokulonda mu ggwanga okufuba okulaba ng’ebyabadde mu kulonda kwa NRM, tebyeyolekera mu kulonda okwawamu.
Katikkiro ng'ali n'abagenyi abakyadde embuga
“Eby’obufuzi bya wano birimu okugulirira kuyitirivu, eby’obufuzi byawano birimu okukozesa eryaanyi nalabye n’emmundu mu kamyufu. Mwe aba JEEMA bwemubeera mugenda mu kamyufu, temuggyayo emmundu,”Mayiga bweyagambye.
Mayiga okwogera bino yasinzidde mu nsisinkano n’abavubuka Bannakibiina kya JEEMA e Bulange gyebuvuddeko nga baakulembeddwamu Ssabawandiisi w’ekibiina kino mu ggwanga Mohammad Kateregga n’abasomooza okubeerako n’ebigendererwa lwaki baayingira eby’obufuzi ng’ekikulu kwe kutereeza obukulembeze bw’eggwanga.
Ku mbeera y’ebyobufuzi eri mu ggwanga, Mayiga yasabye abavubuka bano baleme kuggwaamu ssuubi olw’ebyo ebitatambula bulungi byebalabamu wabula basigale nga batambulira ku miramwa gy’ekibiina kyaabwe.
Minisita w’amawulire, Israel Kazibwe nga yeyabaddewo ku lwa Minisita w’Abavubuka yabasabye okukula nga beesimbu, abeeruufu mu byebakola ate n’okufaayo eri abantu abaagala okubeerwa ate bakubirize nnyo bannabwe okwenyigira mu mirimu okuva ensimbi okuli n’obulimi bw’emmwaanyi.
Ye Kateregga eyabadde n’akulira abavubuka mu kibiina kino Hussein Kasule n’abakulembeze abalala, yabuulidde Katikkiro ng’ekibiina kyaabwe bwekitambulira ku nnyingo taano okuli obwenkanya, ebyenfuna, ebyenjigiriza, empisa, n’okwegatta kwa Africa.
Beebazizza Mayiga ne gavumenti ya Kabaka olw’engeri gyebatambuzaamu emirimu okuli n’okutumbula ebyenfuna okuli mu nteekateeka y’emmwanayi Terimba.
Baaguze satifikeeti ya 1,000,000/- ng’oluwlao lwaabwe okuwagira emirimu gy’Obwakabaka era Katikkiro ng’omuntu nebamuletera ebirala ebiwerako.
Kasule yagambye nti batandikidde mu Buganda naye baakugenda mu maaso n’okukyalira obukulembeze bw’ennono