Amawulire

Minisita Janet Museveni yeeyamye okuyambako essomero ly'ebyemikono erya ‘Muslim Ambassadors of Uganda”a

MINISITA  w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni yeeyamye okukwatizaako  ku batandisi be ttendekero lye by’emikono  mu disitulikiti y’e Luweero erya ‘Muslim Ambassadors of Uganda” (MAU) okulaba nga batuuka ku kigendererwa kyabwe. 

Hadijah Namyalo ng'abuuza ku batikkiddwa
By: Joseph Mutebi, Journalists @New Vision

MINISITA  w’ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Museveni yeeyamye okukwatizaako  ku batandisi be ttendekero lye by’emikono  mu disitulikiti y’e Luweero erya ‘Muslim Ambassadors of Uganda” (MAU) okulaba nga batuuka ku kigendererwa kyabwe.

Kimpadde amaanyi n’essanyu okubeera naamwe nga mutikkira abayizi bamwe abakuguse mu by’emikono abasukka mu 100, abasoose mu  ttendekero lyamwe erya  “Muslim Ambassadors of Uganda” erisangibwa ku kyalo Masinga mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero ku mukolo ogw’e byafaayo

Hadijah Namyalo ng'ali n'abatikkiddwa

Hadijah Namyalo ng'ali n'abatikkiddwa

“Wadde kikulu nnyo gye muli nga abatandsiisi be ttendekero lino okutuuka ku lunnaku luno mu bulamu bwamwe , Wabula  ffenna ng’e ggwanga tufunyemu kubanga  kigenda kusitula ekigendererwa kyaffe nga eggwanga okutuuka ku kirubirirwa kwaffe okusitula eby’emikono okwetololola eggwanga”  Obwo bwe bubaka bwa minisita Janet Museveni obwamusomeddwa akulira offiisi ya ssentebe wa NRM  mu ggwanga Hajat Hadija Namyalo  eyamukikkiridde.

Omukolo guno gwabaddewo ku Lwokutaano lwa wiiiki ewedde ku kyalo Masinga mu ggombolola y’e Kikyusa mu Luweero okwabadde okwabadde n’amatiikira g’abayizi baabwe abasukka mu 100, abasoose abakuguze mu massomo eg’enjawulo

Hadijah Namyalo n'abatikkiddwa nga basala Cake

Hadijah Namyalo n'abatikkiddwa nga basala Cake

Bano bakugusse mu masomo  omuli ‘Tailoring and Garment Design” nga bano bayiga okukola paadi z’abakyala,”Hairdressing bano  bayize okusiiba enviiri, Salon Management and Cosmetology, Catering and Bakery, Farming, Agribusiness, and Smart Agriculture, Art and Craft, Welding, Carpentry, and Joinery n’amalala’

Namyalo eyakikkiridde minisita Museveni,  yasoose kutema vvunike awagenda okuzimbibwa ekizimbe gaggadde omugenda okubeera ettendekero lino ku  kyalo Masinga mu Luweero erikulemberwa Kasim Male yagambye nti ekizimbe ekimu bagenda ku kibulamu minisita Janet Museveni ekkirala Hajjat Hadijah Namyalo eyatemye evvunike.

Namyalo yabakwasizza obukadde 10, okuva minisita bweyabawadde ku lwa   minisitule okubayambaako .

Akulira ettendekero lino Kasim Male yategeezza nti balina amattendekero ge by’emikono wansi wa kitongole kya  “Muslim Ambassadors of Uganda” agaweera 116 okkwetoloola Uganda yonna. Nga eryasooka lyatandikibwawo mu 2017 wabula ne bewandiisa mu mateeka mu 2019

Tags: