Amawulire

Kyabazinga wa Busoga William Nadiope IV akuutidde abazadde okuwa abaana baabwe obudde

KYABAZINGA wa Busoga, William Gabula Nadiope IV, akuutidde abazadde okwongera okuwa abaana baabwe obudde babetegereze n’okubalambika obulungi kubanga y’engeri yokka gyebajja okubafuula ab’omugaso mu ggwanga n’okutuukiriza ebirooto byabwe.

Kyabazinga William Gabula Nadiope IV nga yetabye ku mukolo gw'okujguza olunaku lw'abaana
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

KYABAZINGA wa Busoga, William Gabula Nadiope IV, akuutidde abazadde okwongera okuwa abaana baabwe obudde babetegereze n’okubalambika obulungi kubanga y’engeri yokka gyebajja okubafuula ab’omugaso mu ggwanga n’okutuukiriza ebirooto byabwe.

Bino Gabula abyogeredde ku kisaawe ky’essomero lya Kololo Secondary School mu Kampala bw’abadde ayitiddwa nga omugenyi omukulu ku mukolo gw’okujaguza olunaku lw’abaana munsi yonna olwategekeddwa ab’ekibiina ekitakabanira eddembe ly’abaana munsi yonna ekya UNICEF.

Kyabazinga William Gabula (wakati mu ttayi) nga ali n'abamu ku bayizi b'amasomero n'abantu abetabye ku mukolo

Kyabazinga William Gabula (wakati mu ttayi) nga ali n'abamu ku bayizi b'amasomero n'abantu abetabye ku mukolo

Alaze okutya nti singa abazadde besuulirayo ogwanaggamba mu kukuza abaana kijja kubaviirako okumala gakula kibawe n’omwagaanya okuyingirira emize egiggya okubaggya ku mulamwa ogw’okutuuka ku birooto byabwe.

Ategezezza nti buli abaana lwebabuulirirwa kitegeeza nti tubeera tuzimbye ensi etasobola kulemererwa kyokka n’asaba abazadde era okuwuliriza ennyo amaloboozi g’abaana kubanga gano gategeeza kunene nnyo mu kutekateeka ebiseera byabwe eby’omumaaso.

Dr. Cleophas Mugenyi akiikiridde omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza, ategezezza nga Gavumenti bw’ezze ewagira embeera z’abayizi nga eyita mu kubateerawo eby’enjigiriza ebya U.P.E ne U.S.E nga kino kiyambako okwongera okubakuumira mu masomero.

Anokoddeyo ekizibu ky’okufuna embuto mu baana abawala nga kino kisinze kukosa nnyo abali mu bitundu bye Busoga ky’ayogeddeko nti kyaviirako n’abaana abamu okukola ebigezo byabwe eby’akamalirizo nga bali mbuto nga kino kisaana okwongerwamu amaanyi okukimalawo.

Kyabazinga William Gabula Nadiope IV nga yetabye ku mukolo gw'okujguza olunaku lw'abaana

Kyabazinga William Gabula Nadiope IV nga yetabye ku mukolo gw'okujguza olunaku lw'abaana

Omwogezi wa UNICEF mu Uganda, Catherine Ntabadde ategezezza nga abaana bakyalina okusomoozebwa mu ddembe lyabwe nga n’ekisinga obukulu twetaaga okwongera amanyi ku kuteeka mu nkola amateeka agalwanirira abaana.

Asabye buli omu waali okukwasizaako gavumenti mu kukuuma eddembe ly’abaana kubanga y’engeri embeera zaabwe bwezisobola okutumbulwa.

Omukolo gwetabiddwako abakulembeze ab’enjawulo okubadde akiikirira Sweden mu Uganda Maria Hakansson, akulira UNICEF mu Uganda Robin Nandy ne  Caroline Adriaensen okuva mu European Union nga bano baweze okwongera okukwatagana ne Uganda okunyweza eddembe ly’abaana.

Tags: