Amawulire

Emmaali y 'obusika etabudde Famire

AB’OLUGANDA batabuse lwa mmaali ya busika omu n’alumba omupangisa wa munne n’amukasukira ebintu ebweru ku kiragiro kya Kkooti nga agamba nti yapangisibwa mu bukyamu.

Iddi Matovu Ssemwami. Omusika ng'anyonnyola
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

AB’OLUGANDA batabuse lwa mmaali ya busika omu n’alumba omupangisa wa munne n’amukasukira ebintu ebweru ku kiragiro kya Kkooti nga agamba nti yapangisibwa mu bukyamu.

Bino bibadde Kamwokya Market area Zooni mu Kamwokya II, Idi Ssemwami Matovu omusika w’omugenzi Hajji Abdu Ssemwami bw’azze n’ekiragiro kya kooti ekimuwa olukusa okufulumya abapangisa mu nnyumba z’agamba nti zaamuwebwa mu kiraamo kya kitaabwe kyokka mugandawe Asuman Muwonge n’aziwamba n’aziteekamu abapangisa.

Asuman Muwonge. Gwebalumiriza okuleeta omupangisa mu nnyumba

Asuman Muwonge. Gwebalumiriza okuleeta omupangisa mu nnyumba

Matovu agamba nti kitaabwe yafa mu 2006 era nga yaleka eby’obugagga mu bitundu eby’enjawulo okuli n’amayumba agali e Kamwokya.

Agamba nti omugenzi yaleka ekiraamo nga akirambise bulungi era mukiro ekyakeesa lwebaamwabiza olumbe ekiraamo kyasomebwa balooya beyakirekera.

Kyokka oluvannyuma lw’okugabanya obulungi ebintu, abaana abamu batunda ebyabwe era sente nebazikozesa ebyabwe.

Mu kiraamo abakyala b’omugenzi ababiri beyalina buli omu yawebwa amaka agetongodde n’abaana baabwe.

Kyokka omusika yawebwa e Kamwokya n’awebwa n’olukusa okukyusa ekyapa kyawo kidde mu mannya g’omusika.

Matovu agamba nti yali eyo n’awulira nti bazze nebatandika okukola efujjo ku mayumba agamuwebwa era naye n’addukira ku poliisi gyebaava nebagenda mu kkooti nga omusango guno gubadde gwakamalayo emyaka 9.

Matovu agamba nti Kkooti bweyasala omusango yaguwangula kyokka nga alina okusala amagezi okuggya omupangisa eyateekebwa mu nnyumba nga tamenye mateeka.

Ebintu bya Nambalirwa nga bisuuliddwa wabweru

Ebintu bya Nambalirwa nga bisuuliddwa wabweru

Yagenda ku poliisi  n’atuuka ne mu kkooti eyamuwa ekiragiro okuggyamu omupangisa mu nnyumba era nga yasooka kubalabula nga ekiragiro kino tekinateekebwa mu nkola okutuusa lwekyateekeddwa mu nkola omupangisa n’aggyibwa munju.

Asuman Muwonge, Matovu gw’alumiriza okuwamba ennyumba yabyeganye n’ategeeza nga ennyumba gyeyasaamu omupangisa bweyali teyagabwa nga yasigala ya baana bonna.

Ategezezza nga bw’ayagala baddemu babasomere bulungi ekiraamo ekyo bakakasa ensonga zonna buli ebintu bikolebwe mu bulambulukufu bwabyo.

Ssentebe wa Kamwokya Market Area Zooni, Robert Lubyogo ategezezza nga omugenzi bweyaleka nga ebintu bye byonna abigabye bulungi nga obuzibu bwava ku baana abamu abaatunda ebyabwe nebiggwawo nga kati kwekwagala okuyingirira eby’abalala nga bibakwasa ensaalwa.

Kyokka asabye abapangisa bulijjo okusooka okuddukiranga mu kakiiko k’ekyalo nga tebannaba kupangisa ku mayumba kubanga bo babeera bamanyi ennyumba ezikyaliko enkaayana nebazewaza abantu okutuuka ensonga lwezigonjoolwa.

Esther Namblirwa, omupangisa gwebasuulidde ebintu ebweru yategezezza nga bw’alabidde awo nga ebintu bye bisuuliddwa wabweru kyokka nga abadde tabanjibwa.

Asabye abakulembeze bonna okuvaayo okumulwanirira afune obwenkanya wakiri bamuddize sente ze kubanga talina wakutandikira.

Tags: