Bamulekwa ne Bannamwandu b'omugenzi Hajj Musa Katongole eyali owa UTODA basattira olwa bbanka okulemera ebyapa by'ettaka bamulekwa bye baagabana n'ebimu nga kwekutudde amaka ga Bannamwandu.
Ekimu ku byapa bino kyekituddeko kalina esangibwa ku Mackay road mu Kampala wakati okumpi ne paaka empya ekipangisibwa Equity Bank era nga eno yeeremedde ebyapa bya Bamulekwa.

Ekizimbe ekikaayanirwa
Wabula Equity Bank egamba nti olw'okuyomba okuli mu ba famire baabuzabuzibwa ani muntu omutuufu ow'okukolagana naye ku nsonga z'ebintu by'omugenzi hajj Katongole.
Nnamwandu hajat Aisha Katongole atugambye nti omugenzi yali yewola ebbanja mu Equity bank ne bakkaanya bbanka ekozese ssente ez'obupangisa yesasule ate ezifikkawo baziteeke ku akawunti ya hajj Katongole.
Mu kiseera kino emyaka gikunuukiriza okuwera etaana nga hajj Katongole afudde era n'ebbanja lyaggwayo wabula Equity bank tesasulanga ku Bamulekwa ssente za bupangisa abaagabana ekizimbe ekyo ebbanga eryo lyonna ate nga omugenzi yakirekera abaana n'okusinga abato kibayambe okufuna fiizi era embeera eno yanditataaganya emisomo gyabwe.
Ekirala n'ebyapa ebyakozesebwa nga emisingo nga omugenzi yewola nabyo bbanka bagyetawuddeko ebibaddize ne yerema.
Bamulekwa bebuuza lwaki Yinsuwa teyasasula looni nga hajj Katongole afudde nga amateeka bwegagamba ate omugugu n'eguzza ku famire okumalayo ebbanja ly'omugenzi.
Basabye bbanka enkulu eya Uganda ( Bank of Uganda) eyingire mu nsonga zino nga bagamba nti Equity bbanka ebabbako ebintu byabwe omuli ebyapa ne ssente.
Ebyapa okuli n'ekyamaka ag'e Kisaasi kino nga omugenzi yakigula ku Asuman Katongole era nga naye yali akisinze mu Equity banka nga ebbanja limulemeredde era nga kati ebbanja lino lyaggwayo kyokka nakyo bbanka ekyakiremedde.
Bannanyini kizimbe abaakigabana bawandiikidde aba banka amabaluwa agawera nga baagala ebasasule ssente z'obupangisa wabula bbanka yerema okubasisinkana kati emyaka gigenda kuwera etaano.

Ebbaluwa aba equity Bank gyebaweerezza aba Famire ya Hajji Katongole
Bamulekwa bagamba nti waliwo ebbaluwa Bannamateeka ba Equity bank gyebaabaddamu nga balaga nti waliwo abantu be baasisinkana wabula bannanyini kizimbe bagamba nti abo beboogerako bafere tebabamanyi.
Ekizimbe ekyo kyawebwa Bamulekwa mwenda era baagabana bwebati: 1. Katongole Musa 10%, Katongole Obedi 50%, Sempijja Muhammad 10%, Nassaazi Hanifa 5% Nabakoza Ramze 5% Namugenyi Halima 5%, Nabawesi Hadija 5% Umu Kuluthu 5% ne Namata Iba 5%.
Omwogezi wa bbanka Barbra Among bwetumutuukiridde ku kitebe kya Equity bank ku church house mu Kampala yagambye nti bbo baabategeeza nti omugenzi hajj Musa Katongole teyalaama wabula ku biwandiiko Bukedde byeyalabyeko omugenzi yaleka ekiraamo era kino Abasiraamu kwe baasinziira ne bagabanya emmaali mu mateeka ga Sharia.
Among agamba nti okwerumaruma kungi mu baana b'omugenzi era bakaluubiriziddwa okumanya omuntu omutuufu ow'okukolagana naye ku bintu by'omugenzi kubanga ebiwayi eby'enjawulo bibatuukiridde nga bonna babanja bintu bya mugenzi.
Among agamba nti waliwo n'amabanja aga gavumenti geebasasulira omugenzi wabula n'agamba nti tajja kwanika nnyo bintu bya kasitoma wabwe.
Omu ku ba Executor hajj Abubakeri Kaweesi yagambye nti ekiraamu wekiri era jjajjja w'Obusiraamu Omulangira hajj Dr. Khasim Nakibinge yeyakitereka.
Hajj Kaweesi awabudde nti obuvunanyizibwa omugenzi bweyabalekera mu kiraamo baabumaliriza nga buli omu yawebwa omugabo gwe abamu ku baagabana baatunda ate abalala ne babizza mu mannya gaabwe.
Alabudde aba Equity bank bakolagane ne bannanyini kizimbe abatuufu era beewale obukolagana n'abababuzaabuza kubanga bajja kubakozesa ensobi.