Amawulire

Omuwabuzi wa Pulezidenti Phionah Barungi  ayingidde mu nkaayana z'ettaka lya  famire y’omugenzi Ssaalongo Ntate  e Buloba

OMUWABUZI wa pulezidenti  ku nsonga ez’enjawulo Phionah Barungi  ayingidde mu nkaayana ze ttaka lya  famire y’omugenzi Ssaalongo Ntate  e Buloba ,  ne yeerayirira   okufaafagana ne yamenye ennyumba  omusula abantu nge nsonga ziri mu Kkooti. 

Omuwabuizi wa Pulezidenti Phiona ng'ayogera ne family ezikaayanira ettaka
By: Sarah Zawedde, Journalists @New Vision

OMUWABUZI wa pulezidenti  ku nsonga ez’enjawulo Phionah Barungi  ayingidde mu nkaayana ze ttaka lya  famire y’omugenzi Ssaalongo Ntate  e Buloba ,  ne yeerayirira   okufaafagana ne yamenye ennyumba  omusula abantu nge nsonga ziri mu Kkooti.

“Bwenyingira mu nsonga nga zino okulwanirira abanyigirizibwa ,  bagamba ntataganya Kkooti naye osuula otya ennyumba omuli abantu ng’owulira abaana abalimu  baboyaana  betaaga kuyambibwa kyokka nga tewali abafaako . Eyakikoze  yazizza omusango ,  ensonga zino ziri mu Kkooti ate namennye  ennyumba nga talina  kiragiro kyonna kivudde mu kkooti

Phiona ng'agonjoola enkaayana z'ettaka

Phiona ng'agonjoola enkaayana z'ettaka

Yayongeddeko nti kino  ekikolwa ssi kya buntu,  akola ekintu nga kino nga taafaayo  ku kiddirira abeera mukyamu wabula ngenda kunoonyereza okutuusa lwe namuzuula ate mulemereko mpaka mu Kkooti  kubanga kino kikwata ku bulamu bwa bantu kyovudde olaba nga nsitukiddemu .

Kiddiridde Jackie Namanda Ntate muwala w’omugenzi Ntate  okuddukira mu offisi  ya Barungi n’amulaajanira  nti ennyumba ya kitaabwe omusula abantu yamenyeddwako  ekitundu n'egwa lwa nkayana za ffamre kyokka ng’emisango giri mu mu Kkooti .Yayongeddeko nti mutowe Nakato Ntate basoose  ku mugalira mu Kkomera oluvannyuma ne balumba  awaka ne nga teri abatangira  .

Namanda eyabadde ne looyawe Charles Oundo bagezaako okwekubira endulu kyokka tebayambibwa nga bwe bali  bakona ennyumba,  abaali awaka bakubira abakulira poliisi ye kitundu ne tabayamba nti ebintu byaffe byabatama . Bakubira akulira poliisi ya Wakiso eyateeeza nti abalumirirwa naye talina kyakola , atwala ekitundu kya Kawempe teyabayamba nakulira  CPS kyokka bonna bagana okubaddukirira . Baguddewo omusango ku  fayiro ku poliisi ya Bulooba .

Barungi yasituse n'agenda ku mu maka  gano ku kyalo  Bwotansimbi mu ggombolola ya  Buloba mu disitulikiti ya Wakiso awali enkayana weyatuzizza olukiiko  olwetabiddwanu amyuka RDC wa Wakiso Yosam Kikulwe,   poliisi ,  balooya be njuuyi zonna na bantu abenjawulo olwagendereddwa okuzuula ekituufu ku nkayana eziri mu ffamire eno ezavuddeko okukona amaka   

Namanda yanynyodde  nga kitabwe bweyalina  amaka ga mirundi esatu okwali e Matugga , Nsangi ne Buloba .  Yayongeddeko nti eby’obugagga byagabanyizibwamu kyokka  ewaabwe basigaza  enkayana . Bagabanya ettaka   ne nnyumba ne bagigabanyamu  oludda nga lwa Nakato olulala lwa  mwanyinabwe  Peter Ntate , nga lwe lwakoneddwa.  

Ssentebe we kitundu kino Dan Kiwanuka yategeezezza nti enkayana za ffamire eno azimanyi  ne Kkooti yaletebwa ku kyalo ne basalawo ku ttaka lino

Ennyumba eyamenyeddwa

Ennyumba eyamenyeddwa

Looya wa  bagabanya eby’obugagga by’omugenzi , Kimath Kiapi  yalaze nti omugenzi yaleka ekiraamo n'alambika ebyobugagga bingi era buly’omu bamugabanya nga bwe kyalambikibwa ne yegana oky’okwenyigira mu kumenya ennyumba . Kiapi yasabye Barungi okuyambako ffamire eno basobole okukkanya kubanga  basaasanyiza ssente nnyingi mu balooya nga bali mu Kkooti  .

Peter Ntate eyabadde ne looyawe Robert Mugera yeganye oky’okumenya  ennyumba eno .Looya Mugera yategeezeza nti  Nakato yagalirwa ku misango omuli okusalimbira ku ttaka lya  Dr. Dr. Rose Mutumba  eryamuwebwa mu kiraamo kubanga mwana wa mutowe  , ekirala yamenya kabuyonjo ya Peter n’okwewa obuyinza okuddukkanya ebintu by’omufu nga tabirinako  buvunanyizibwa . Ekirala Nakato alina endagana eziraga nti  yatunda ettaka okutudde ne nnyumba eno .

Amyuka RDC Yosam Kikulwe  yasabye enjuuyi zonna okubeera abakkakamu kubanga bino bye  bivaamu abantu abantu okutemagana .  

Wabula Barungi yagambye nti wakwongera okunoonyereza okuzuula ekyabaddewo mu bbanga ttono , wabula bwe banamuwandikira  mu butongole wakuyingira mu nsonga zabwe  asobole okubatabaganya

Tags: