Amawulire

Viika Genero w’e ssaza ly’e lugazi Dr Richard Kayondo avumiridde ettemu eryabdde e Gaba

ABAKRISTU e Lugazi batambuzizza ekkubo ly’omusaalaba ne basabibwa okulongoosa emitima gyabwe n’okukyawa ebikolwa ebikyamu nga ebyakoleddwa omusajja eyayingidde essomero awakuumirwa abaana abato n’abafumita ebiso nga bamutunuulidde tebamanyi kigenda mu maaso

Okutambuza ekkubo ly'omusaalaba e Lugazi
By: Mukasa Kivumbi, Journalists @New Vision

ABAKRISTU e Lugazi batambuzizza ekkubo ly’omusaalaba ne basabibwa okulongoosa emitima gyabwe n’okukyawa ebikolwa ebikyamu nga ebyakoleddwa omusajja eyayingidde essomero awakuumirwa abaana abato n’abafumita ebiso nga bamutunuulidde tebamanyi kigenda mu maaso

Viika Genero w’e saza ly’e lugazi Munsennyori Dr. Richard Kayondo yaakulembeddemu ekkubo ly’omusaalaba nga ali wamu ne Rev. Fr. Ignatius Kibowa Bwanamukulu wa Lugazi Cathedral Parishi  lyebatandikidde ku Ssomero Lya St. Michael  Nursery And P/S  e Nakazadde ne batambula okutuuka ku Ekerezia Lutikko ey’esaza ly’e Lugazi

Richard Kayondo ng'akulembeddemu okutambuzza ekkubo ly'omusaalaba

Richard Kayondo ng'akulembeddemu okutambuzza ekkubo ly'omusaalaba

Viika Kayondo avumiridde ebikolwa eby’emitima emibi egitalina kusaasira n’agamba nti ne bwekyaalibadde nga omutemu abadde n’obutakkaanya kubanannyini kifo awakuumirwa abaana amabujje nti naye kyabadde tekimwetaagisa kulumba mabujje kutandika kugasogga biso negatuuka okufiira mubulumi n’agamba nti ekyo ensi yonna ekivumirira naddala nga tuli mu nnaku z’amazuukira

Asabye  bekikwatako mu kunonyereza bakole buli ekisoboka omutemu atwalibwe mu mbuga z’amateeka avunaanibwe era aweebwe ekibonerezo ekigya mu musango gweyazizza nga nebwaaba taweereddwa kibonerezo kya Tit- fo Tat  nti naye ekibonerezo ekimuweebwa mubutuufu bwaakyo kyeekyokka ekiyinza okuyamba abalala okuyigirako ate n’okunyiga bazadde b’abaana abo ebiwundu

Asabye abakristu okweyambisa ennaku nga zino okwebuulirira n’okubonyabonyezebwa kwa YEZU engeri gyeyayisibwaamu okuva lweyakwaatibwa okutuuka lwebaamukomerera nga talwaanye n’abaali bamutwaala okumutta kuba yali ayagala okufiirira omwaana w’omuntu ate okubeera ekyokulabirako nga ye nsonga lwaaki okuttibwaakwe n’okuzuukirakwe kukulu nnyo eri abkristu

Tags: