Omuvumbuzi w'eddagala lya Kansa ne Sukaali ayagala kudduka mu ggwanga lya kumuyigganya

Omuvumbuzi w'eddagala eryogerwako okuwonya kookolo ne sukaali ayimirizza okujjanjaba abalwadde olw'okulwanyisibwa okuva mu basawo abazungu  okutuusa nga gavumenti evuddeyo ne gezesa eddagala lye mu butongole ne litongozebwa.David Ssenfuka agambye nti abasawo abamu naddala abajjanjaba kookolo bazze bamulwanyisa nga bamulumiriza nti ajja abalwadde ku malwaliro n'abagya ne ku  ddagala n'abazza ku lirye ekintu ekitali kituufu ate abalala  bamuteeka ku nninga ababuulire ebirungo byateeka mu ddagala lye nakyo kyakyagaanye okukola.

David Ssenfuka wakati nga anyonyola
By Alice Namutebi
Journalists @New Vision

Omuvumbuzi w'eddagala eryogerwako okuwonya kookolo ne sukaali ayimirizza okujjanjaba abalwadde olw'okulwanyisibwa okuva mu basawo abazungu  okutuusa nga gavumenti evuddeyo ne gezesa eddagala lye mu butongole ne litongozebwa.

David Ssenfuka agambye nti abasawo abamu naddala abajjanjaba kookolo bazze bamulwanyisa nga bamulumiriza nti ajja abalwadde ku malwaliro n'abagya ne ku  ddagala n'abazza ku lirye ekintu ekitali kituufu ate abalala  bamuteeka ku nninga ababuulire ebirungo byateeka mu ddagala lye nakyo kyakyagaanye okukola.

Agambye nti batandise n'okulwanyisa abasawo abazungu bakozesa nga babagaana okukolagana naye olw'okuba ajjanjabisa ddagala gganda abantu lye batandise okweyunira ne bava ku zungu.

Bino abyogeredde mu lukungaana lw'amawulire n'agamba nti abasawo bano abamulwanyisa baagala eddagala bweriba likola liteekebwe mu malwaliro gonna ekintu naye kyasaba kubanga yatuuka n'okukuba gavumenti mu mbuga olw'okulwawo okugezesa eddagala lye ku Bantu ng'ate lyayita ku mutendera ogusooka ogw'okuligezesa ku bisolo nga teririna bulabe bwerikola ku bitundu by'omubiri ebyamaanyi nga omutima, ekibumba n'ensigo.

Ssenfuka agambye nti n'abamulondoola wakolera basusse y'ensonga lwaki asazeewo ebyokujjanjaba abalwadde abapya abiveeko era yataddeyo dda okusaba kwe mu nsi ssatu okuli Rwanda, Saudi Arabia ne United Arab Emirates ezandiyagadde okumubuddamya eddagala alikolere nga eyo.
 
Ssenfuka anyonyodde nti abasawo abamulwanyisa abalaba nga ab'enswala abalwanyisa eddagala eganda erya herbal, abalwanyisa obuvvumbuzi era abaatagala ggwanga kukulakulana mubya sayansi ng'ate ekintu kyakola singa litongozebwa kigya kuyamba ensi yonna.

Anyonyodde nti kituufu eddagala lyonna okuweebwa abantu lirina kusooka kugezesebwa naye kino kisobola n'okumala emyaka 10 nga eno abantu balwala n'okufa buli kiseera ng'ate eddagala erisobola okuyamba weeriri.

Asazeewo nti ebyokujjanjaba abalwadde abapya abivuddeko okutuusa gavumenti lwerigezesa eddagala ku Bantu

Gyebuvuddeko minisita w'ebyasayansi Monica Musenero yategeezeza nga gavumenti bweri mu ntekateeka  y'okutandika okugezesa eddagala lya Ssenfuka ku Bantu oluvanyuma lwokulisoosa ku bisolo nga teririna bulabe.