OMUVUBUKA asindikiddwa Luzira lwa kufera mmemba wa palamenti emitwalo 25
Perez Maduma 27, omutuuze w'e Kanyanya nga mukubi wa bifaananyi ye yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi Nicholas Aisu ku kkooti ya Cityhall n’asomerwa omusango gw'okwefuula ky’atali n’agya emitwalo 25 okuva ku Mercy Kanyesigye.

Perez Maduma Ng'asimbiddwa mu kkooti ya cityhall
Omuwaabi wa Gavumenti, Benjamin Amannya yategeezezza kkooti nti bakyakola okunoonyereza mu musango guno n’asaba olunaku olulala lw’anaakomezebwawo.
Omulamuzi yasindise Maduma mu kkomera okutuusa nga Nov 19, 2026 lw’anaakomezebwawo okuwulira omusango
Okusinziira ku mpaaba kigambibwa nti, mu mwezi gwa October 2026, ku Palamenti ya Uganda, Maduma yakozesa olukujjukujju n’afuna emitwalo 25 okuva ku minisita Kanyesigye ng’amusuubizza okumukuba ebifaananyi mu lukung’aana lwa bavubuka mu distulikiti y'e Kamuli ky’ataatuukiriza.