Imported

Eky’ababaka ba Trump okugwa kireka wa Yisirayiri, Putin ne Iran

LABA ekibalo kya Trump bwe kyatabuse ng’ababaka be babakubye akalulu ne kireka banywanyi be Putin ne Yisirayiri mu kattu nga Iran yeesekera.

Engeri amaka g’abantu gye gasaanyiziddwaawo mu Iran mu lutalo
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

LABA ekibalo kya Trump bwe kyatabuse ng’ababaka be babakubye akalulu ne kireka banywanyi be Putin ne Yisirayiri mu kattu nga Iran yeesekera.

Buli emu ku ezo ensi, erimu olutalo era Trump ne Palamenti gy’abadde akulembera nayo, babadde balina bwe bakutte ensonga.

Trump

Trump

Gavumenti ya Trump ne Palamenti ye, babadde mabega wa Yisirayiri ku lutalo mwe beegattira okukuba Iran. Babadde bamega waayo mu ntalo z’erina n’amawanga agagyetoolodde okuli Palasitina, Lebanon, Yemen ne Syria. Ekibuuzo kiri nti, kiggwa kitya nga Trump bamuwaguddeko ettabi lye erya Palamenti?


Ku Iran kye kibuuzo kye kimu wabula ku Russia eyalumba Ukraine ate nga Trump abaddemu n’enkolagana ey’enjawulo ne Putin, kyo kibuuzo kinene ku ngeri olutalo olwo bwe lunaasigala.

 

BINAATAMBULA BITYA KU RUSSIA NGA TRUMP AGYIDDWAAKO PALAMENTI

Abatunuulizi b’ebyobufuzi balaze nti ng’oggyeeko okusoomooza Donald Trump kwe yesanzeemu olwa bannansi okulonda ababaka abamuwakanya, Putin kumpi ye yasinze okufiirwa. Kati akabuuzo kali kamu nti;

Putin

Putin


Russia esigadde wa nga Palamenti ebadde esingamu ababaka ba Republican bayiiriddwa ne bakomyawo aba DP, abaali akabwa n’engo ku Putin ku mulembe gw’eyali Pulezidenti Joe Biden. Ku mulembe gwa Biden mu 2022, Putin we yalumbira Ukraine era Biden yakola kinene okumulemesa okuwamba ekibuga Kiev.


Wadde nga mu 2019 mu kisanja kye ekyasooka Trump ye yali yawa Ukraine ebikompola bya FGM-148 Javelin ne mizayiro ekika kya Anti-tank Missiles ezaakuba ttanka za Russia ezaali ziva mu Belarus, Biden yasangibwa yakyawa Putin n’ayongera Ukraine emmundu enkambwe.
Trump bwe yakomawo mu 2025, Putin yassa ku kikkoowe engeri gye balinamu enkolagana egambibwa nti eri mu byabusuubuzi. Yatuuka n’okumukyaza mu ssaza lya Alaska mu August wa 2025 ekyanyiiza Abazungu kumpi bonna mu nsi olw’okuzza Putin engulu mu byobufuzi by’ensi yonna, ne bateesa ku by’olutalo lwa Ukraine.


Trump era yakkirizza ne Russia okwetaba mu lukiiko lw’amawanga ga G20, olwabadde mu kibuga Atlanta mu America, Putin n’asindika minisita we Sergey
Lavrov, ow’ensonga z’ebweru.


Ng’atuuse mu buyinza, Trump yategeeza nti ebitundu Russia bye yawamba mu buvanjuba bwa Ukraine okuli n’ekizinga kya Crimea, tebisuubirwa kuddizibwayo. Yagattako okucoomera Pulezidenti wa Ukraine, Volodymyr Zelenskyy eyali ayogera ebingi ng’alinga akaka Trump okumwongera obuwagizi, ekyaleetera Trump n’omumyuka we okumulangira obutasiima bye bamukoledde.

Zelenskyy

Zelenskyy


Wonna awo nga Putin asekera mu kikonde, ku ludda olulala ng’Abazungu naddala mu Bulaaya okuli; Germany, Bungereza, Bufaransa, Italy bafa obusungu olwa Trump okumuzza engulu mu lutalo olwali nga olumulemye.


Ekikyasembyeyo, kwe kusalako Ukraine obuyambi bwa setirayiti ezigiyamba okukuba tagyeti mu Russia olwo nga Putin amaze okukola ddiiru ya dizero gw’asuubuza America ekyaggyeewo nnatti ezassibwawo mu kusuubulagana.


Byonna Trump abadde abikola ng’abasinga ku babaka mu Palamenti ya America babikkiriza. Akasambulabbwa katuuse essaawa eno ng’ababaka abatamuwagira bakomyewo. Putin kati alowooza kiddako kuba ne we twakoma nga Biden akyalowooza ku ky’okuwa Ukraine mizayiro ez’amaanyi ekika kya Storm Shadow, ekiyinza okudda mu ddiiro sso nga Trump yali yakigaana.


Singa Ukraine ekwata ku mizayiro ezo, ekibuga Moscow kiba ku muliro era kyandireetera Putin obuzibu nga bannansi bafa olw’okubooca nga naye bw’abooca mu Kiev buli olukedde.


Wabula Trump yalabudde dda nti, singa ababaka abo bayisa amateeka g’atakkiririzaamu, agenda kugakolako kye bayita Veto (ekitegeeza nti, ajja kugagaana akozese obuyinza bwe nga Pulezidenti).


Abatunuulizi b’ebyobufuzi ku mukutu gw’amawulire ga CNN bagamba nti, Putin eyagaana edda okuteesa obutereevu ne Zelenskyy ku ky’okukomya olutalo ng’alemedde ne ku ky’okutwalira ddala ebitundu by’azze awamba ku Ukraine, yandipondooka nga Palamenti enkambwe gyali ekomyewo mu America. Jd Vance

Jd Vance

Mu ngeri y’emu waliwo abalaba ensonga eno ng’eyinza okukaluubiriza Ukraine n’okusinga Russia.
Ekyo kiva ku mateeka agasinga okukwata ku mawanga g’ebweru (Foreign Policy), okusinga okuba nga geetooloolera ku Pulezidenti okusinga Palamenti.


Ekyo kitegeeza nti, Trump ayinza okusalawo okulemesa ebya Palamenti ebinyiga Putin, n’akozesa buyinza bwe okuyisa by’ayagala nga bw’azze akola mu kisanja kino ekyakatambulako emyaka ebiri.


Kyokka ebyo byonna ne Putin essaawa eno alinze kulaba kiddako ku nteeseganya ezirimu amawanga; Ukraine, America ne Russia okuddamu omwezi guno mu kibuga Abu Dhabi ekya UAE.


EBISUUBIRWA KU BYA IRAN

Ekya Iran tekigenda kuba kizibu nga kya Russia, kuba Trump kennyini yakkirizza nti, olutalo ku ggwanga lino, lwe lwasinze okuvaako obuzibu ekibiina kye okuwangulwa mu kalulu.


Ebyo yabyogedde anyumyamu ne bannamawulire ba Fox News mu America. Kati abatunuulizi balowooza nti, y’essaawa akkirize ebimu ku biteeso bya Iran bye yassaawo nti agiggulire eddemu okutunda amafuta, nayo eggulewo akagolomolo ka Strait of Hormuz.


Ebbula ly’amafuta lyalinnyisizza bbeeyi yaago mu nsi yonna n’ebintu ne birinnya nga kati ababaka ba Palamenti abapya, baagala basooke bakole ku bbeeyi yaabyo ekke.
Kisuubirwa nti ababaka bagenda kumukaka akole endagaano emala olutalo olwo. Ekyo bagenda kukikola nga bagaana okuyisa ebintu by’ayagala omuli n’okwongera ssente mu bajeti ya minisitule y’ebyokwerinda.

 

Kyokka abatunuulizi b’ebyobufuzi abalala abaayogedde ne bannamawulire ba The Independent balowooza nti, Trump ayinza okwekyawa mu kumala olutalo olwo, n’aleka ng’akubye bbomu ya ‘mini nuclear’ ku kasozi akagambibwa okukwekebwamu nukiriya wa Iran, aka Peackaxe.


Essaawa eno mu Iran, bangi bali mu kujaganya olw’okugwa kw’ababaka ba Trump. Sipiika wa Palamenti ya Iran, Mohammad Bagher Ghalibaf yatadde obubaka ku mukutu gwe ogwa X nti, singa Trump tawuliriza balonzi kye baasazeewo, obuzibu bungi bukyajjira ab’ekibiina kye.


Kyokka omukambwe wa Iran, Mojtaba Khamenei ye yalabudde nti, buli ali mu Palamenti k’abeere eyavuddeyo oba eyazze, tewali ayagala Iran era ye tasuubira njawulo ku binaddako.

Mojtaba

Mojtaba


YISIRAYIRI ERI MU KATTU KANENE

Amawulire ga CNN gaawandiise nti, ‘End of an era’ nga bateebereza nti enkolagana ya America okupokera Yisirayiri ssente z’ebyebyokwerinda, zigenda kukendeera nnyo.
Ku bimu ku byasudde ababaka ba Trump, ze ssente ennyingi n’obuwagizi obw’enjawulo bw’abadde awa Katikkriro wa Yisirayiri, Benjamin Netanyahu.

Netanyahu

Netanyahu

Netanyahu yennyini yalemeddwa mu ggwanga lye okuwangula akalulu. Trump era yakkirizza n’okukendeeza obuyambi mu by’ekijaasi bw’abadde awa eggwanga eryo.
Aba DP nabo banyiivu eri ssente ennyingi America z’ebadde ewa Yisirayiri nga bagamba nti, zibadde zijongera amaanyi okukola ekitta bantu mu mawanga Yisirayiri g’erinako embiranye.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Trump
Yisirayiri
Putin