Amawulire

King Saha ayiyeewo omubiri amalirize ennyumba ya Kapere

OMUYIMBI King Saha ayiyeewo omubiri, okumaliriza ennyumba ya Kepere, olwo Namwandu etere alye Ssekukkulu ng’ewedde.

King Saha ng’ayogera, emabega y’ennyumba gye bazimba okumaliriza
By: Henry Nsubuga, Journalist @New Vision

OMUYIMBI King Saha ayiyeewo omubiri, okumaliriza ennyumba ya Kepere, olwo Namwandu etere alye Ssekukkulu ng’ewedde.

King Saha Ng’ayogera, Emabega Y’ennyumba Gye Bazimba Okumaliriza.

King Saha Ng’ayogera, Emabega Y’ennyumba Gye Bazimba Okumaliriza.

Manisul Ssemanda nga g’emannya ge ag’obuzaale, amakanda yagakubidde ddala ku kyalo Bulimu mu ggombolola y’e Kyampisi mu disitulikiti y’e Mukono era omulimu gw’okumaliriza ennyumba y’abadde munywanyi we, kazannyirizi Yokaana Mbuuse (Kapere) eyafa ku Ssande gugenda mu maaso.

 

King Saha agamba nti tajja kuseguka okutuusa ng’ennyumba ewedde olwo Namwandu Lydia Nakandi (Maama Trump) n’abaana be, bafune we basula.


“Kapere yali yambuulira ku mulimu gw’okuzimba ennyumba era n’ategeeza nti gwali gumutudde mu kifuba. Namuwabula ategeke ekivvulu mmuyimbire, ng’ensimbi ezinaavaamu azikozese okumaliriza ennyumba ye.

Omugenzi Kapere.

Omugenzi Kapere.

Eby’embi ate n’afa nga kino tekinnabaawo era ndabye nga kinneetaagisa okutuukiriza obuvunaanyizibwa Kapere bwe yampa mu bulamu,” King Saha bwe yategeezezza.
Era ebikozesebwa byayiiriddwaawo n’abazimbi ne batandika omulimu.


“Kapere abadde akola ebinsanyusa, ate ne King Saha awomye omutwe mu mulimu guno naye mukwano gwange era ndi muwagizi we. Kino tukikoze kuddiza ku Kapere nga tumuzimbira ennyumba ey’ekirooto kye,” Dalawusi Matovu, omu ku baakuliddemu omulimu gw’okuzimba bwe yategeezezza.

Matiiriyo Ayiiriddwa Agenda Okuzimba Ennyumba.

Matiiriyo Ayiiriddwa Agenda Okuzimba Ennyumba.

King Saha agamba nti ennyumba bw’eggwa, waakutegekerewo nnamwandu bizinensi gy’anaakola, aggyengamu ensimbi ezirabirira abaana.
King Saha agamba nti ne mikwano gya Kapere emirala, gy’aweerezza ssente omulimu guggwe okuli; Gen. Megga Dee eyaweerezza akakadde k’ensimbi n’omulala gwe yayogeddeko erya Jaffer naye eyaweerezza akakadde, Aziz Azion (300,000/-), Fefe Busi (100,000/-) , n’abalala. Abamu baaweerezza bintu bikalu.


NAMWANDU MUSIIMU
Namwandu, Nakandi yategeezezza nti musanyufu abayimbi okumukwatirako ne batuukiriza okuyaayaana kwa Kapere okw’okuva mu bupangisa.

Namwandu Wa Kapere.

Namwandu Wa Kapere.


“Wadde ndi mu nnaku y’okufa kwa baze, ate nfunye essanyu kuba njolekedde okuwona omuzigo! Si kyangu kuliisa baana ate nga bw’onoonya ne ffiizi. Naye bw’oba tolina agenda kukubanja za bupangisa, situleesi ekendeerako,” Namwandu bw’agamba.


Kapere yafa ku Ssande ya wiiki ewedde n’aziikibwa ku Lwokubiri nnamungi w’omuntu eyakulemberwamu bannakibiina kya NUP okuviira ddala ku bakulembeze ab’oku ntikko okuli akulira ababaka ba Palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti, Joel Ssenyony eyagambye nti nabo baakumukwatizaako.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
King Saha
Maama Trump
Kapere