Amawulire

Aba Uganda Tourism Board basse ne CAF okulanga mu mpaka za AFCON 2027

Aba Uganda tourism board bakoze omukago n'abakulira omupiira mu Africa aba CAF okulanga mumpaka za Afcon  2027 nga batumbula ebyobulambuzi mu ggwanga.

Omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa,Minista w'ebyobulambuzi Susan Nakawuki , ssabawandiisi wa CAF Samson Adamu wakati ,akulira UTB Julian kagwa ne Minista omubeezi ow'eby'emizannyo Ogwang
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

Aba Uganda tourism board bakoze omukago n'abakulira omupiira mu Africa aba CAF okulanga mumpaka za Afcon  2027 nga batumbula ebyobulambuzi mu ggwanga.

 

Omukago guno ogw'ebyafaayo baagutaddeko omukono ku Lwokutaano mu Kampala. 


Omumyuka wa sipiika wa palamenti Thomas Tayebwa yayanirizza enteekateeka eno n'ategeeza nti ejja kuyambako nnyo eggwanga ne mu by'enkulaakulana olw'obungi bw'ensimbi bw'egenda okwongera okuyingiza okuva mu by'obulambuzi .


Minisita omubeezi ow'ebyemizannyo yakakasizza nti ne Gavumenti yaakuteeka essira mu kwongera ku bukodyo obw'okusikiriza abalamubuzi okuva munsi yonna okuba be basasaanya ssente ennyingi.


Minisita w'ebyobulambuzi Suzan Nakawuki yagambye nti bo okusinga kye batunuulira ze ssente okweyongera  mu ggwanga nga ziva mu by'obulambuzi eby'emipiira.

 


Akulira ekitongole ky'ebyobulambuzi mu ggwanga ekya UTB, Juliana Kaggwa yalaze essanyu nti kino kiwadde eggwanga omukisa okwongera obukodyo mu ggwanga mu ngeri esikiriza abalambuzi.


Empaka za AFCON 2027 zigenda kuba z'abyafaayo  nga zigatta Uganda, Kenya ne Tanzania ng'ensi 3 ezisoose okutegekera awamu omupiira ku lukalu lwa Africa 

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
AFCON 2027
CAF
Uganda Tourism Board