Bya John Bosco Sseruwu
Abatuuze ba Master Cell esangibwa mu Lukaya Town Council e Kalungu baguddemu ekyekango munnaabwe bw'azuuliddwa nga yafiira mu muzigo okumala ennaku ssatu.
Afudde Lukaya4
Omugenzi Kasirye eyafudde.
Okusinziira ku Vianey Birungi akulira poliisi y'e Lukaya omugenzi ategerekeseeko lya Kasirye ng'abadde mukozi mu kifo ekisanyukirwamu ekimanyiddwa nga Domazo era ono abadde abuze ku mulimo okuva ku Ssande, kwe kutandika okumunoonya okutuusa lwe baazudde nga yafiira mu nnyumba atandise n'okuvunda.
Afudde Lukaya
Nnannyini nnyumba okubadde kusula omugenzi ng'aliko byannyonnyola.
Nnannyini nnyumba okuli omuzigo omugenzi kw'abadde apangisa ategeerekeseeko erya Maama Nannyanzi ayongeddeko nti baliraanwa be baasoose okuwulira ekivundu ekiva munda, ne batemya ku boobuyinza abaakubidde poliisi n’ejja n’emenya oluggi era amaaso gatuukidde ku mulambo nga guvaamu omusaayi mu kamwa ne mu nnyindo.
Afudde Lukaya1
Abatuuze nga beetegereza omulambo gwa munnaabwe.
Poliisi omulambo eguzinze mu kiveera ne gutwalibwa mu ggwanika e Masaka okwekebejebwa.