ABEEBYOKWERINDA e Kalungu bali mu kunoonyereza ku ngeri omuvubuka gye yafiiridde mu kifo ekisanyukirwamu oluvannyuma omulambo ne gusuulibwa ewaabwe.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye ategeezezza nti eyafudde ye Yasin Kawooya 19 era omulambo gwe gwasangiddwa ekiro ku ssaawa nga 7:00 wabweru w'ekifo ekimanyiddwa nga Under Cover Guest House and Bar mu Master Cell Lukaya Town Council.
Abatuuze Ne Poliisi Mu Maka Omulambo We Gwasuliddwa12
Kigambibwa nti oluvannyuma ng'obudde bukya abantu abatannategeerekeka omulambo baaguvuze ku pikipiki ne batuuka ewaabwe ne bakonkona nnyina Hadijah Nalubega bwe yagguddewo oluggi lw'ekikomera ne bagumusuulira ne babulawo.
Yatemezza ku poliisi y'e Lukaya eyakulembeddwa agikulira John Abeho eyagenze ne kabangali yaayo n'eggyayo omulambo ne gutwalibwa mu ddwaliro e Masaka okwekebejjebwa.
Oluvannyuma poliisi yazinzeeko ekifo kya Under Cover n'ekwata nnyini kyo Vincent Kakeeto n'abakozi abaasangiddwawo ne babaggalira mu kadduukulu.
Kakeeto (ku Ddyo), Nnannyini Kifo Awaafiiridde Omuntu
Ssentebe wa LCI mu Master Cell, Hajji Edirisa Kayemba n'abatuuze beekokkodde engeri etali ntuufu ekifo kino gye kiddukanyizibwamu n’agamba nti kibuddamya abamenyi b'amateeka nti abateeka eby'okwerinda by'ekitundu ku bunkenke.
"Mu kusooka nnyini kifo yajja nga mutuuze ng'azimbyewo ennyumba ya maka, naye twebuuza gye yajja olukusa okuteeka loogi n'ebbaala buli lunaku ekuba ebidongo ebitabaganya batuuze kwebaka," ssentebe bwe yayongeddeko.
Sipiika wa Lukaya Town Council, Dominic Muwanga yategeezezza nti bazze bafuna okwemulugunya kw'abatuuze ku ffujjo erizze likolebwa mu kifo kino nti omuli n'okukozesa abawala abato mu bwa malaaya, n'agamba nti babadde bateekateeka kukiggala na bino we byagwiriddewo.