Omutuuze afiiridde mu kuziika Dr. Kiggundu

ABAKUNGUBAZI mu lumbe lwa Dr. Spire Kiggundu baaguddemu ekyekango, abantu 6 abaabadde basimba weema, amasannyalaze bwe gaabakubye omu n’afiirawo, abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro ng’embeera mbi.

Omutuuze afiiridde mu kuziika Dr. Kiggundu
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABAKUNGUBAZI mu lumbe lwa Dr. Spire Kiggundu baaguddemu ekyekango, abantu 6 abaabadde basimba weema, amasannyalaze bwe gaabakubye omu n’afiirawo, abalala ne batwalibwa mu ddwaaliro ng’embeera mbi.
Bino byabaddewo ku Lwokubiri, ku kyalo Butozi-Lusaka mu Town Council y’e Kaliisizo. Eyafudde ye Wasswa Mukuubwa 58, omutuuze ku kyalo Kidde okumpi n’awaakumiddwa olumbe.
Abalala abaakoseddwa kwabaddeko; John Kiweesi, Wasswa Stephen, Njagala Stephen n’abalala okuli Junior, Brian, nga bano baddusiddwa mu ddwaaliro lya St. Padro Pio e Butozi okufuna obujjanjabi.
Abaabaddewo baategeezezza nti baabadde basimba weema, ne bakoona ku waya y’amasa- nnyalaze ne gabakuba.

Oluvannyuma poliisi y’e Lusaka yazze n’eggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika e Kaliisizo okwekebejjebwa.
Okusinziira ku ssentebe w’ekitundu kino, Vicent Kateregga, baaguddemu ekikangabwa olw’abantu baabwe abaakoseddwa ng’ate mu kaseera ke kamu nga bakyali mu kunyolwa olwa Dr. Spire Kiggundu.
EBYABADDE MU KUZIIKA
Eggulo, ebikumi n’ebikumi by’abakungubazi beeyiye ku kyalo Butozi-Lusaka okuwerekera omugenzi Dr. John Bosco Spire Kiggundu.
Mu bakungubazi mwabaddemu abasawo b’abadde akola nabo, bannaddiini, ebikonge okuva mu gavumenti n’abantu ba bulijjo.
Omukolo gwatandise n’ekitambiro kya mmisa ekyakulembeddwa omusigire w’omusumba w’essaza lye Masaka, Rt. Rev. Fr. Dr. Dominic Ssengooba ku lw’omusumba Serverus Jjumba ng’ono asabye abakkiriza okuba n’essuubi mu bulamu ng’omugenzi Dr. Spire bw’abadde
Yatenderezza omugenzi olwokuba omukozi ateebalira n’asaba abakyali ku nsi okumulabirako.
Dr. Patrick Nnyanzi ku lw’ekibiina ekigatta abasawo yagambye nti, babadde beenyumiriza mu Dr. Kiggundu kubanga abadde mugattabantu era omukulembeze.
Bamulekwa nga bakulembeddwamu Wasswa Henry Luyinda beebazizza kitaabwe olw’okubalambika obulungi omuli n’okubaagazisa Katonda.
Dr. Bernadet Nakabazzi nnamwandu w’omugenzi ayogedde ku bba ng’abadde afaayo eri ffamire ye.
Dr. Kiggundu 48, nga ye nnannyini ddwaaliro lya Henrob Hospital e Zana yasangiddwa afiiridde mu wooteeri ya Dreams Hotel e Kitende ku Ssande.
Lipoota y’abasawo abakugu okuva e Mulago yalaze nti yafudde bulwadde bwa mutima