Omutindo gugoba Bannayuganda mu katale k’ebirime

NG’OBUSUUBUZI bw’ebirime wakati w’amawanga agali mu mukago g’Obuvanjuba bw’Afrika n’okweyongerayo buli lukya bweyongera okutojjera, abamu ku balimi mu Uganda bali mu kusoomoozebwa ku katale.

Omutindo gugoba Bannayuganda mu katale k’ebirime
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

NG’OBUSUUBUZI bw’ebirime wakati w’amawanga agali mu mukago g’Obuvanjuba bw’Afrika n’okweyongerayo buli lukya bweyongera okutojjera, abamu ku balimi mu Uganda bali mu kusoomoozebwa ku katale.

Kino kivudde ku mutindo gw’ebirime okuva ku mawanga ag’omuliraano okubeera ogwa waggulu bw’ogeraageranya n’ogw’ebyo ebirimibwa mu Uganda ate ebiri ku katale n’abaguzi be bamu.
Gabriel Musiitwa, mulimi  ate nga musuubuzi wa nnyaanya ku luguudo lwa Kafumbe
Mukasa mu Kisenyi mu Kampala, agamba nti, okuvuganya okuliwo ku birime ebirimibwa mu Uganda n’ebiva ku mawanga ag’omuliraano kugenda kuggya
bangi ku bulimi.
Agamba nti, okugeza ennyaanya eziva mu Kenya zituuka mu Uganda ku bbeeyi ya wansi
okusinga ey’ezo ezirimibwa wano  ate nga n’omutindo gwazo guli
waggulu.
“Obulimi bwa Uganda bulimu okunaanya kungi er  nga bangi ku balimi tebataddeeyo
mwoyo ku kunoonyereza ku birime eby’embala ssaako endabirira yaabyo omuli; okweyambisa ebigimusa, okufukirira n’okweyambisa eddagala ettuufu
ku biwuka ssaako okukuuma, ekimuli