Oluvannyuma ly’ebbanga lya mwezi mulamba ne wiiki bbiri nga ttiimu y’eggwanga ey’omuzannyo gw’okubaka She Cranes eri mu kutendekebwa okutali kwakusulayo ku kisaawe e Kamwokya, ttiimu yaakuyingira enkambi ku nkomerero ya wiiki eno.
Enkambi She Cranes yaakugikuba ku African bible society e Lubowa nga yaakuberamu abazannyi 20 kwabo 27 abazanyira awaka ababadde batendekebwa ne ttiimu.
“Okusalako abazannyi tugenda kusinziira ku foomu gye baliko wamu n’empisa ze boolesezza omwezi omulamba gwetumaze mu kutendekebwa e Kamwokya. Be tusalako si nti bazannyi babi nabo balungi wabula tuba tulina okulondako abo abasinga,” Mugerwa bwe yannyonyodde.
Shakira Nassaka nga yoomu ku bazannyi abaluubirira okubeera ku ttiimu ey'abazannyi 20 abagenda okwesogga enkambi agamba omwezi guno omulamba gumuyambye okwekuumira ku ffoomu nga mugumu nti ne ku ttiimu ey'abazannyi 15 abagenda e South Africa waakubeerako.
“Ebbanga lino linnyambye okunkuumira ku foomu era nga mmanyi bulungi nti mpaddeyo kyonna ekyetaagisa okulaba nga mbeera ku ttiimu egenda e South Africa,” Nassaka bwe yatangaazizza.
Empaka z’okubaka ez’ensi yonna eza Netball world cup zaakubeera mu Cape Town ekya South Africa okuva July 28-06 August.
Guno Mulundi gwakuna nga She Cranes yetaba mu mpaka zino nga ogwasooka gwaliwo mu 1979 mu Trinidad and Tobago.
Mu mpaka z’omwaka guno Uganda eri mu kibinja ekyokuna omuli New Zealand, Singapore ne Trinidad and Tobago.