NNAGAGGA Dr. Sudhir Ruparelia awangudde engule y’eby’obulambuzi eya zzaabu gye bayita “Flamingo Trophy” olw’okubeera musiga ensimbi asinze mu by’obulambuzi.
Sudhir ye nannyini Speke Resort Munyonyo , Speke Apartment Kampala, Kabira Country Club, Speke Hotel Kampala ne nddala nnyingi nga zino ze zimu ku woteeri ezisinga okusuza abalambuzi mu ggwanga.
Sudhir nga bamukwasa engule
Awaadi eno yamuweereddwa nga September/27/2025 ku lunaku lw’eby’obulambuzi mu nsi yonna oluyitibwa “Uganda’s World Tourism Day” mu kibuga Arua ku ‘Scenic Arua City Golf Course’.
Omugenyi omukulu ku mukolo guno yabadde ssabaminisita wa Uganda Robinah Nabbanja eyatendereza omulimu minisitule y’e byobulambuzi n’e kitongole ky’e by’ebisolo ekya “Wildlife” n’ebirala bye kikwatagaana nabyo omulimu gwe bikoze okuteekawo enkulaakulana n’omutindo gw’eby’obulambuzi ku mutendera gw’e nsi yonna.
Mu ngeri ey’enjawulo Nabbanja yebazizza nnyo bamusiiga nsimbi abawano mu Uganda abakulembeddwamu Nnagagga Dr. Sudhir Ruparelia abakoze omulimu omunenne ennyo okutumbula eby’obulambuzi nga bateekamu ssente zabwe ekiyambye eggwanga lyaffe okwongera okukula mu by’enfuna.
Sudhir ng'alaga engule emuweereddwa
“Amaanyi agateekeddwamu abantu ssekinomu nga Dr. Sudhir n’abalala okwongera ettofaali ku gavumenti byekoze okulaba nga batumbula eby’obulambuzi gakoze kinenne nnyo okutumbula ebyenfuna mu ggwanga lyaffe” Nabbanja bweyategezezza.
Awaadi gye “Flamingo Trophy” eyaweereddwa Dr. Sudhir baabadde bamwebaza okubeera ow’enjawulo mu by’obulambuzi nga ateeka ssente mu kuzimba woteeri n’ebisolo.
Sudhir yasubizza okwongera amaanyi mu kuteeka ssente mu by’obulambuzi omuli okuzimba woteeri mu bitundu bya Uganda ebyenjawulo abalambuzi gye basobola okusulamu gattako okukuuma obutonde bwe nsi.
Sudhir nga bamukwasa engule ye
Nabbanja ye bazizza nnyo abantu b’omu Arua n’e bitundu West Nile abakoze omulimu omunenne okulaba nga bakuuma obutonde bw’e nsi obuyaayanirwa abazungu abajja kuno okulambula.
Omukolo guno gwetabiddwako abakungu okuva mu ggwanga lya DRC Cong, South Sudan, abakungu ba gavumementi ya Uganda, abantu ba bulijjo, abasuubuzi n’abekitongole ky’e bis