Amawulire

Basabye GV't eyongere amaanyi mu kulondoola ez'emiruka

BAKUNGU abavunaanyizibwa ku ntekateeka ya PDM nga bali wamu ne RCC we Nakawa Edrine Benesa basisinkanya abatuuze n’abaaganyulwa mu ntekateeka eno mu muluka gwe Mutungo ne babalombojjera ennaku gyebayitamu

Okukubaganya ebirowoozo ku ssente za PDM
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

BAKUNGU abavunaanyizibwa ku ntekateeka ya PDM nga bali wamu ne RCC we Nakawa Edrine Benesa basisinkanya abatuuze n’abaaganyulwa mu ntekateeka eno mu muluka gwe Mutungo ne babalombojjera ennaku gyebayitamu.

Abatuuze bemulugunyizza ku bam uku bakulembeze baabwe ab’emiruka bebagamba nti baayolesa obutali bwenkanya bwebaabamma sente zino olwo nebazifuula za baluganda na mikwano ekintu ekimenya amateeka kubanga sente zaali za bantu bonna.

Nga basinziira mu nsisinkano gyebabaddemu ku Power of God Church e Mutungo, balaze obutali bwenkanya obugenda mu maaso mu ntekateeka eno nebasaba abagivnaanyizibwako okutuukira ddala mu bantu bakole okunoonywereza okutuufu ku mivuyon egigenda mu maaso.

ensonga za PDM

ensonga za PDM

Florence Nakato, mu ku bwewandiisa okufuna ku sente zino akangudde ku doboozi bw’ategezezza ng abakulembeze bebaalonda bwebasusse okubasosola n’okubaleka ebbali nga sente baziwa abo bokka bebaagadde.

Ategezezza nti baakoola ku mpapula zonna ezetaagisa kyokka nga bwebazituusa mu bakulembeze baabwe nga bazikweka n’okuziyuza ekyabaviirako obutafuna sente.

Asabye abakulembeze okuyingira mu nsonga eno okulaba nga egonjoolwa kubanga nabo sente bazetaaga okwekulakulanya.

Muhammad Muwanika om uku bavunaanyizibwa ku ntekateeka eno mu Muluka gwe Mutungo asabye abakulembeze okuva mu Gavumenti okuvaayo bongere amaanyi mu kusomesa abantu ku b’ani abatuufu abalina okufuna ku sente zino kubanga besanze nga n’abamu ku batalina kuzifuna bazirinze ate oluba okubawabula nga banyiiga nti babasosodde.

Sulaiman Mukwaya avunanyizibwa ku kulondoola entekateeka ya PDM mu muluka gwe Mutungo akkirizza nti kituufu abantu abamu tebaafuna sente nga kyava ku kuba nti zaali ntono nga ate abantu bangi.

Okukubaganya ebirowoozo ku nsente za PDM

Okukubaganya ebirowoozo ku nsente za PDM

Avunanyizibwa ku kulondoola pulojeki ez’enjawulo abantu abafunye sente za PDM zebakola, Irene Muwanguzi anenyezza nnyo abakulembeze abatali balambulukufu mu ntekateeka eno nti batta ekigendererwa kyayo.

Agumizza nga bwebagenda okwongera okunnyikiza emisomo mu ggwanga lyonna ku ntekateeka eno abantu bamanye ekituufu okusinga okukilwanyisa.

Asabye abo abafunye ku sente za PDM okufuba okuzikozesa obulungi okwejja mu bwavu okusinga okuzirya obulyi.

RCC we Nakawa Edrine Benesa ategezezza nga bw’atagenda kuttira muntu yenna ku liiso aleeta emivuyo mu ntekateeka eno n’asaba abo bonna abakikola okukikomya.

Tags: