Amawulire

Banneekoleragyange balombozze byebayitamu

BANNEKOLERAGYANGE  mu munisipaali ye Nakawa basisinkanye abakungu okuva mu maka g’Obwapulezidenti nebabalombojjera ennaku gyebayitamu nga bakola omulimu guno omuli n’okulumbibwanga endwadde ez’olutatadde.

Ensisinkanoen banneekoleragyange
By: Huzaima Kaweesa, Journalists @New Vision

BANEKOLERAGYANGE  mu munisipaali ye Nakawa basisinkanye abakungu okuva mu maka g’Obwapulezidenti ne babalombojjera ennaku gyebayitamu nga bakola omulimu guno omuli n’okulumbibwanga endwadde ez’olutatadde.

Bano nga basinziira mu nsisinkano gyebabaddemu e Mbuya bategeezezza nti bayita mu kusomoozebwa kungi nnyo okwebezaawo nga n’ekisinga obuzibu z’endwadde ezibalumbagana olutatadde.

Kino bakitadde ku bikozesebwa omuli obupiira bu kalimpitawa n’eddagala erimiribwa okutangira endwadde n’okwejanjaba okuba nga bitono ddala nga kino kiteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Proscovia Mumbejja, omu ku bakola omulimu guno ategezezza nga bwebesanga nga bwetayagala kukola mulimu guno naye nga kiva ku mbeera ebakalubiirira ate nga balina abaana ab’okulabirira.

Banneekoleragyange nga bali mu lukiiko

Banneekoleragyange nga bali mu lukiiko

Ekizibu yakitadde ku basajja ababazaalamu abaana nebabaddukako nebabalekera abaana era mukubanoonyeza eky’okulya kwekusalawo okukola omulimu guno naye nga nabo tebagukola lwa kwagala.

Ategezezza nga byebakola bwebatabikola lwa kwagala nga abeera mbeera y’ebawaliriza n’asaba abakulembeze naddala mu gavumenti okuvaayo babakwatireko wakiri babeeko bu bizinensi obutonotono bwebatandikawo guno omulimu baguveemu kubanga guteeka obulamu bwabwe mu matigga.

Anokoddeyo n’abasajja abatayagala kwejanjabisa ndwadde kyokka olumala nebaggya gyebali nga kino kibaviirako nabo okusiigibwa endwadde ezongera okubamalako sente nga bejjanjaba.

RCC we Nakawa, Edrine Benesa ategezezza nga omulimu guno bwegulimu abantu abasoba mu 400 mu Nakawa nga baagala bakole ekibiina kyabwe eky’obwegassi n’ekigendererwa eky’okuwebwa ensako yabwe okuva ewa pulezidenti bekulakulanye n’okufuna emirimu emirala.

Banneekoleragyange nga bali mu nsisinkano

Banneekoleragyange nga bali mu nsisinkano

Omu ku bakungu abavunanyizibwa ku by’enkulakulana mu maka g’obwapulezidenti, Vincent Mugenyi abagumizza nga pulezidenti bw’ayagala okulaba nga nabo bakola ebibakulakulanya n’abasaba okwongera okukwataganira awamu.

Kyokka abasabye okwongera okubeera abegendereza nga bakola omulimu guno kubanga gulimu okusomoozebwa kungi naddala okw’endwadde n’asuubiza okwongera okulondoola ku kwemulugunya kwabwe kwonna okuteeka obulamu bwabwe mu matigga kukolebweko

Tags: